TOP
  • Home
  • News
  • Omusajja anziruseeko n'andekera olubuto

Omusajja anziruseeko n'andekera olubuto

Added 21st March 2021

Kisaakye

Kisaakye

NZE Suzan Kisaakye 19, nzaalibwa Butalejja naye mu kiseera kino mbeera mu Kampala. Bwe nnava mu kyalo natuukira Kansanga gye nakola bizinensi y'okutunda engatto.

Eno gye nnalabira omusajja eyanjogereza era gye byaggweera ng'antengudde omutima.
Oluvannyuma lw'akabanga nga mbeera n'omwami wange, nafuna olubuto lw'omwana
waffe eyasooka era nga kati ali mu mwaka gumu n'ekitundu.

Ng'ekirwadde kya Corona tekinnatandika, omwami wange yalina bbaala mwe yakoleranga naye n'eggalawo oluvannyuma lw'okulangirira omuggalo era omulimu bwe gutyo ne guggwaawo.

Ng'omulimu guweddewo, omwami wange yasalawo okugenda okufuna omulimu ku
kyolezo gye yakolera okumala ebbanga newankubadde nga nayo baamugobayo.

Omwami wange ng'atuuse ku kisenge, yasalawo okuntwala mu kyalo ewaabwe kyokka ng'eno ssezaala wange yatugobayo nti baze yali yamunyiiza.

Twasalawo okubeerako ku kyolezo omwami wange gye yali akolera kyokka nayo nga baatukoowayo ne batugoba.

Nasalawo okugendako ewa mukwano gwange eyannyamba naye oluvannyuma navaayo
ne nzirayo ewa ssezaala wange ne mwetondera ku lw'omwami wange kyokka naye yangoba bugobi.

Nagenda ew'abakulembeze b'ekyalo e Kiruddu - Buziga okunoonya we nnyinza
okusula nga nabo tebalina we bansuza.

Nagenda ku poliisi . ez'enjawulo n'amasinzizo naye era saafuna kuyambibwa nga
bagamba tebasobola kubeera na mukazi ali lubuto.

Nze ndowooza nti ekisinze okuleeta obuzibu kwe kuba nti ndi lubuto ate ng'omwami
yanzirukako. Sirina buyambi bwonna ate nga n'essimu ye yagiggyako kati simanyi na waakutandikira.

Nsaba abazirakisa n'abantu bonna banziruukirire n'obuyambi mu ngeri yonna nga
bayita ku ssimu 0756147354.

  • TAGS:

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

NEZIKOOKOLIMA

▶️ Abaana abakoze ebibuuzo ...

▶️  NEZIKOOKOLIMA: Abaana abakoze ebibuuzo ebyakamalirizo musigale nga mukyali baana awaka.  

Ssempijja ng'asomesa abalimi.

Okugattika ebirime kye kiku...

MINISITA w'obulimi obulunzi n'obuvubi, Vincent Ssempijja asinzidde mu disitulikiti y'e Bukomansimbi n'ategeeza...

Abakristaayo lwe basabira wabweru ku Ssande.

Obulabirizi bw'e Namirembe ...

OBULABIRIZI bw'e Namirembe buyingidde mu nkaayana z'ettaka ly'ekkanisa e Kyanja n'ebugumya Abakristaayo  okusigala...

Jonathan McKinstry (wakati) ng'abuulirira Khalid Aucho (ku kkono) ne Mike Azira (ku ddyo).

Micheal Azira naye annyuse ...

MICHEAL Azira agucangira mu kiraabu ya New Mexico United yeegasse ku bassita ba Cranes babiri abakannyuka omupiira...

Nyombi ng'alaga olubuto mw'afulumira.

Afulumira mu kapiira alaajanye

OMUVUBUKA ow'emyaka 32 alaajana oluvannyuma ly'okumulongoosa ekyenda n'atawona nga kati yeetaaga obukadde butaano...