TOP
  • Home
  • News
  • ▶️ Ebiri mu nsala y'omulamuzi Kisaakye eyabatabudde ne Ssaabalamuzi

▶️ Ebiri mu nsala y'omulamuzi Kisaakye eyabatabudde ne Ssaabalamuzi

Added 21st March 2021

Omulamuzi Kisaakye

Omulamuzi Kisaakye

ENSALA y'omulamuzi Esther Kisaakye eyongedde olutalo mu kkooti ensukkulumu, bwe bagaanye okugiteeka mu biwandiiko ebitongole eby'ensala eziweereddwa abalamuzi ba kkooti eyo ku musango gwa Kyagulanyi.

Akakuubagano ak'amaanyi kali wakati wa Dr. Kisaakye ne Ssaabalamuzi Owiny Dollo era kaamalirizza kakubye ebituli mu ssiga eddamuzi.

Eky'omulamuzi Kisaakye okulumiriza Dollo nti yalagidde ne bamuwambako
fayiro, kye kyasinze okuwaawaaza abantu amatu.

Obutakwatagana wakati wa Kisaakye ne Dollo bwasooka kweyoleka ku Lwakusatu nga
kkooti etudde okuwa ensala yaayo ku musango Male Mabiriizi gwe yawaaba ng'ayagala Dollo ave mu musango gwa Robert Kyagulanyi kubanga yali looya wa Pulezidenti
Museveni mu musango gw'obululu Dr. Kizza Besigye gwe yawaaba mu 2006.

Ssaabalamuzi Owiny Dollo.

Ensala ya Kisaakye mu musango gwa Mabiriizi nayo eyawukana ne Dollo gye yawa ng'alaga nti tewaali buzibu kusigala ng'awulira omusango ogwo.

Ku Lwokutaano ku makya, Kisaakye yakedde kutegeka kuwa nsala ye mu musango gwa Mabiriizi ng'alaga lwaki Dollo yalina okuva mu musango gwa Robert Kyagulanyi
Ssentamu (Bobi Wine) mwe yaloopera Pulezidenti Museveni, akakiiko k'ebyokulonda ne Ssaabawolereza wa gavumenti era ng'ayagala ebyava mu kulonda bisazibwemu akalulu kaddibwemu.

Kisaakye yasuze alaalise nti ensala eyo nayo agenda kugiwa ne bwe kinaaba kyetaagisa kugisomera wansi wa muti!

Wadde Kisaakye yasobodde okuyingira ekizimbe kya kkooti ensukkulumu ku makya g'Olwokutaano, wabula ebyokwerinda byanywezeddwa amangu ago era abaserikale ne balemesa bannamawulire okuyingira wamu ne balooya okuli ne Mabiriizi eyawaaba omusango.

Mabiriizi yalaalise nga bw'agenda okutwala Ssaabalamuzi Dollo n'abalamuzi abalala
abatuula ku kkooti ey'oku ntikko abawaabire mu kakiiko akavunaanyizibwa ku nneeyisa
y'abalamuzi aka Judicial Service Commission olwa kye yayise enkola eremesa obwenkanya okukolebwa, nga byonna byekuusa ku musango gwa Kyagulanyi.

Omusango gwa Kyagulanyi gubadde guwulirwa abalamuzi mwenda okuli; Ssaabalamuzi Alfonse Owinyi Dollo, Dr. Esther Kisaakye, Stella Arachi, Rubby Opio Aweri, Faith Mwondha, Paul Mugamba, Ezekiel Muhanguzi, Mike Chibita ne Night Percy Tuhaise.

EBIRI MU NSALA YA KISAAKYE MU GWA KYAGULANYI
Abalamuzi 8 baasomye bulungi ensala yaabwe nga bawa ensonga mu bulambulukufu lwaki bagaana Kyagulanyi okukola ennongoosereza n'okuleeta obujulizi obwali busigaddeyo mu musango gwe yali avunaana Pulezidenti Museveni.

Kkooti (ebadde etuula mu weema) yayabuse ku ssaawa nga zinaatera okuwera omusavu era Ssaabalamuzi Dollo n'ategeeza bonna abaabaddewo nti kkooti egenda kuddamu ku 7:30. Ssaawa nga zikunukkiriza 8:30, baayiise balooya bonna mu ofiisi ya Ssaabalamuzi kyokka baabadde tebannakomawo, omulamuzi Kisaakye n'akomawo yekka mu weema okusoma ensala ye mwe yagaanidde okukkiriziganya n'ebyasaliddwaawo banne.

Yabadde yaakatuula, abaserikale ne bajja ne batwala fayiro zonna omwabadde n'eya Kisaakye. Abakola ku byuma nabo bazze ne baggyako emizindaalo Kisaakye kwe yabadde alina okwogerera era omulamuzi Kisaakye n'asigala mu ntebe nga yeewuunya
ebigenda mu maaso.

Balooya bonna baakomyewo okuva mu kafubo ke baabaddemu mu ofiisi ya Ssaabalamuzi gye baabadde bayitiddwa era olwayingidde weema, omulamuzi Kisaakye mwe yabadde atudde, baakuttemu byabwe ne bagenda.

Wabula bbo balooya ba NUP abaabadde bakulembeddwa Samuel Muyizzi baasigaddewo okuwulira ensala ya Kisaakye. Omulamuzi Kisaakye yagambye nti: Fayiro omuli ensala yange bagiwambye nga bakolera ku biragiro bya Ssaabalamuzi Dollo era balamuzi bannange basazeewo obutanneegattako nga nsoma ensala yange ku lw'ensonga zaabwe yadde nga nze mbaddewo nga basoma ensala eyaabwe.

Simanyi lwaki Ssaabalamuzi asazeewo okukozesa enkola ey'effujjo bw'etyo. Yalinze bamukomezeewo fayiro ye nga buteerere okutuusa lwe yeesitudde n'agenda okugyekimira kyokka era teyagifunye.

Yazze akutte fayiro endala gye yayogeddeko nga "Draft" ekitegeeza "empapula kwe yabagira ensala ye" n'agamba nti "Eno gye ng'enda okusoma".

Yasoose kugamba nti Dollo n'abalamuzi abalala baabadde baagala asooke abawe ensala ye bagiyitemu nga tannagisoma kye yagaanyi okukola ng'agamba nti wadde mpisa ya kkooti okuwa ku balamuzi banno ensala yo, naye bwe kiba tekikoleddwa tewaliiwo
tteeka lyonna mulamuzi ly'aba amenye.

Yagambye nti bwe yali aweebwa obulamuzi ku kkooti ey'oku ntikko mu 2009, yalayira okukuuma Ssemateeka era n'akuba n'ebirayiro by'obulamuzi era y'ensonga lwaki yasazeewo okujeemera ebiragiro ebyabadde bimuweereddwa Dollo kubanga yakirabye nga tebiri mu mateeka.  Dr. Kisaakye mu balamuzi 9 ababadde mu musango y'abasinga obuyigirize n'obumanyirivu.

Nga Pulezidenti Museveni alonda Dollo okubeera Ssaabalamuzi, omulamuzi Kisaakye y'omu ku baali mu lwokaano naye teyasobola kuyita mu kakung'unta.

Omwogezi w'essiga eddamuzi, Solomon Muyita yagambye nti ensala ya Kisaakye tebagibala era ne mu biwandiiko bya kkooti teriimu, okutuusa ng'eyise mu mitendera emituufu.

Yagambye nti ssi kituufu nti fayiro ya Kisaakye yawambiddwa n'ategeeza nti abalamuzi
omunaana bwe baasabye Kisaakye ensala ye n'atagibawa ne kisalibwawo agiwe olunaku olulala Ssaabalamuzi lw'anaaba alonze.

Yagambye nti olunaku olwo Ssaabalamuzi bw'anaalulonda, Kisaakye n'ajja ne balamuzi banne n'awa ensala ye, olwo ng'eryoka eyingizibwa mu "likodi" za kkooti ey'oku ntikko.

Muyita yagambye nti Kisaakye kye yakoze tekwabadde kuwa nsala kubanga Ssaabalamuzi yabadde amaze okutegeeza balooya b'enjuyi zombi nti kkooti eyongezeddwaayo okutuusa olunaku lwe balibategeeza.

Yawunzise nti ekyabaddewo bakitunuulira ng'olukungaana lwa bannamawulire.

‘SIKKIRIZIGANYA NA NSALA YA BANNANGE'

Mu nsala ya Kisaakye yagambye nti takkiriziganya na nsala y'abalamuzi banne omunaana bwe baagaana Bobi okumwongera ennaku okumalayo obujulizi bwe bwonna n'agamba nti abalamuzi baabuusa amaaso nti Kyagulanyi yamala ennaku 10 nga bamusibidde mu nnyumba ye n'atasobola kukwatagana bulungi ne balooya ssaako abajulizi be okwetegekera omusango.

Yagambye nti emyaka 35 Museveni gy'amaze mu buyinza yabadde alonda aduumira amagye n'akulira poliisi ate abapoliisi n'amagye be baali mu maka ga Bobi nga tebamukkiriza kufuluma ekitegeeza nti byonna bye baali bakola Museveni yali abimanyiiko nga mu mbeera eno baali banyigiriza Bobi ku lw'obulungi bwa Museveni.

Ensala ya Kisaakye era yalaze nti Kyagulanyi yalina okukkirizibwa okukola ennongoosereza mu mpaaba ye kubanga obuvunaanyizibwa Ssemateeka bwe yawa kkooti mu musango ogw'ekika ekyo busukka ku kuwuliriza obuwuliriza omusango wabula ne butuuka ne ku kubuuliriza.

Yagasseeko nti emisango egy'ekika kyekimu egizze giwaabibwa, kkooti ezze ekkiriza abawaabi okulongoosa empaaba yaabwe n'okwongerayo obujulizi.

Yalaze nti bwe kiba nga kkooti yakkiriza Amama Mbabazi okutereeza n'okwongera obujulizi mu musango gwe ogwa 2016 ate nga teyayisibwa mu ngeri Kyagulanyi gye yayisibwamu ey'okusibirwa awaka, kuba kwekuba ndobo okugaana Kyagulanyi okukola kyekimu mu 2021.

  • TAGS:

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lubega akulembedde ne Amatos ku kkooti e Makindye.

Abaali bafera paasita basin...

ABASUUBUZI b'omu Kampala basindikiddwa mu kkomera lwa kugezaako kufera Paasita ssente ezikunukkiriza mu buwumbi...

Spice Diana asiibuludde aba...

Bya Mukasa Lawrence  ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku...

Abakozi ba Rock bavudde mu ...

Bya Phoebe Nabagereka Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga...

FDC evumiridde effujjo erik...

Bya Doreen Namaggala AMYUKA ssabawandiisi w'ekibiina ki FDC, Arnold Kaija asabye bannayuganda okukomya okutiisatiisa...

Abazigu balumbye ekigo ne b...

Abazigu ababadde n'ebijambiya, emitayimbwa saako ennyondo bazinze ekigo kya Kabulamuliro Catholic Parish, ne bamenya...