TOP
  • Home
  • News
  • Magufuli; Lwaki bakyusizza mu pulogulaamu y'okumuziika

Magufuli; Lwaki bakyusizza mu pulogulaamu y'okumuziika

Added 22nd March 2021

Abantu nga bakungubagira Magufuli (mu katono).

Abantu nga bakungubagira Magufuli (mu katono).

GAVUMENTI ya Tanzania ekyusizza mu ntegeka y'okuziika Magufuli era okuziika okubadde okw'okubeerawo ku Lwokuna kati kwakubeerawo ku Lwokutaano lwa wiiki eno.

Okuva Magufuli lwe yafudde, wazze wabeerawo enkyukakyuka mu ntegeka z'eby'okuziika era eggulo baalangiridde ng'okuziika bwe kukyusiddwa ne kudda ku Lwokutaano.

Pulezidenti wa Tanzania omuggya Samia Suluhu Hassan yasooka kukyusa kya nnaku za kukungubaga. Mu kusooka yali alaze nti zigenda kubeera 14, kyokka bwe yamaze okulayizibwa n'alaga nti zongeddwaako zigenda kubeera 21.

Nnamwandu Janeth Magufuli Ku Mukolo Gw'okusabira Omwoyo Gwa Magufuli Mu Kisaawe Ky'e Uhuru.

Kigambibwa nti okwongezaayo ennaku z'okukungubaga kyavudde ku kusaba okwakoleddwa bammemba b'ekibiina ekiri mu buyinza ekya Chama Cha Mapinduzi (CCM) okuggyayo ekifaananyi n'ekitiibwa ky'omukulembeze gwe bafiiriddwa.

Kino kyajjuliriziddwa n'okukungubaga okwalangiriddwa mu mawanga ag'omuliraano okuli Kenya eyalangiridde ennaku 7 ne Uganda eyalangiridde ennaku 14 nga bendera z'amawanga ago zeewuubira wakati w'emirongooti okumala ennaku ezo, ng'akabonero k'okukungubaga.

Abamu ku bammemba nti baamatizza bannaabwe nti tebasobola kubeera na nnaku zenkana n'ezo abamu ku baliraanwa baabwe ze bawaddeyo okukungubaga era nti awo ne kisalwawo zifuuke 21.

Ssadduuko Y'omulambo Gwa Magufuli.

Wadde Suluhu ye yasooka okulangirira ennaku 14, yaweereddwa obuvunaanyizibwa okulangirira enkyukakyuka mu nnaku z'okukungubaga era ategeeze abantu nti zifuuse 21 era n'akirangirira mu kwogera kwe okw'Olwokutaano ng'amaze okulayira.

Nga tebannaba kukyusa lunaku lwa kuziika, waasooseewo olukiiko lw'ekibiina kya CCM olwa bammemba ab'oku ntikko olwatudde ku Lwomukaaga.

Bammemba mu lukiiko olwo baasembye bongereyo olunaku lumu okusobozesa pulogulaamu y'abakungubagira Magufuli okugigaziyaamu era ensonda zaategeezezza nti ne kiyita nga tewali kuwakanyizibwa kwa maanyi.

Kigambibwa nti waliwo abaagezezzaako okutegeeza olukiiko nti kigenda kuwa akabonero akabi mu bantu ku Pulezidenti omuggya oluvannyuma lw'okumukyusisa ennaku z'okukungubaga ate ne bamukyusisa n'olunaku lw'okuziika. Kyokka ebyo tebyawuliriziddwa era eky'okwongerayo okuziika ne kirangirirwa eggulo.

Omukutu gw'amawulire e Tanzania ogwa Sauti Kubwa gwategeezezza nti Pulezidenti omuggya yaweereddwa amagezi okukkiriza ebyo byonna ebiba biyisiddwa olukiiko lwa CCM okwewala ebiyinza okumuviiramu, sinakindi okumulemusa entebe. Kino nti era ky'ekisuubirwa ne mu kulonda omumyuka wa Pulezidenti agenda okukula ne Suluhu era aba CCM gwe banaaba basiimye okuwa ekifo, Suluhu tasuubirwa kumuwakanya.

PULOGULAAMU Y'OKUKUNGUBAGA
Nga March 20, 2021: Omulambo baagututte ku ddwaliro ly'amagye erya Lugalo Military Hospital ne ku klezia ya St Peter's Catholic Church e Dar es Salaam.

Baaguvugidde mu mmotoka y'amagye okuyita ku nguudo ez'enjawulo ng'abantu bwe bagusuulako ebimuli ate abalala nga basuulako ebikoola by'emiti bye baabadde balina.

1. March 21: Omulambo baagutadde mu kisaawe kya Uhuru Stadium e Dar es Salaam abantu ne basimba ennyiriri okumulabako.
2. March 22: Omulambo bagenda kugutambuliza ku nnyonyi okugutwala e Dodoma nayo abantu bamulabeko era balangiridde nti lunaku lwakuwummula wonna mu Tanzania.
3. Enkya Lwokubiri March 23: Omulambo gwa Magufuli bagutwala ku kizinga e Zanzibar nabo bamukungubagire.
4. Ku Lwokusatu March 24: Omulambo bagutwala Mwanza nayo abantu bamukungubagire.
5. Ku Lwokuna March 25: Omulambo lwe gutwalibwa gy'azaalibwa e Geita aba ffamire bamukungubagire mu butongole n'abantu b'ekitundu era gwakusuzibwa e Chato gy'azaalwa.
6. Ku Lwokutaano lwa wiiki eno March 26: Emikolo gy'okuziika gyakutandika n'emmisa ku Klezia mu disitulikiti y'e Chato gy'azaalibwa olwo bamuziike ewaabwe kwolwo.

Samia Sululu Hassan (wakati) Kati Pulezidenti Wa Tanzania Omuggya Ng'akuba Eriiso Evvanyuma Ku Mulambo.

BALOOYA BATADDE AKAZITO KU PULEZIDENTI OMUPYA
Bannamateeka e Tanzania batadde akazito ku Pulezidenti omupya Samia Suluhu Hassan 61, nga baagala olukiiko lwa Baminisita lwonna aluyiwe alonde bapya.

Nga bayita mu kibiina ekigatta bannamateeka e Tanzania ekya Tanganyika Law Society (TLS) bafulumizza ekiwandiika nga bawabula ku birina okugobererwa nga pulezidenti Suluhu yaakamala okulayira ne banokolayo ennyingo mu Ssemateeka ezirambika nti ne Katikkiro wa Tanzania alina okulonda omuggya.

Pulezidenti Suluhu yakubye ekirayiro ku Lwokutaano March 19, 2021 okudda mu bigere bya Dr. John Joseph Pombe Magufuli ng'ono gavumenti eraga nti yafudde obulwadde bw'omutima ku Lwokusatu lwa wiiki ewedde.

Bannamateeka mu kiwandiiko kye baafulumizza baajulizza ennyingo (51) (2) ne 57(2) (e) mu Ssemateeka wa Tanzania. Ennyingo 35 (1) egamba nti buli minisita alondebwa, emirimu abeera agikola ku lwa Pulezidenti.

Ennyingo 51 (2) erambika okulonda Katikkiro w'eggwanga nti mu nnaku 14 nga pulezidenti ayingidde ofiisi alina okulonda omuntu nga mubaka wa palamenti ava mu kibiina ekisinza ababaka abangi era omuntu oyo bw'akakasibwa Palamenti awo akuba ekirayiro mu maaso ga Pulezidenti n'afuuka Katikkiro wa Tanzania.

Baanokoddeyo n'ennyingo 57(2)(e) egamba nti omuntu aggyibwa mu ofiisi ya Katikkiro ng'alekulidde oba ku lw'ensonga endala yonna. Bagamba nti engeri gye kiri nti Pulezidenti Magufuli lwe yafudde, ne Katikkiro aliko Kassim Majaliwa gwe yalonda ekisanja kye kibeera kiweddeko.

Ekiwandiiko ekyateekeddwaako omukono gwa pulezidenti wa TLS, Dr. Rugemeleza Nshala baagala Suluhu alonde Katikkiro omulala mu nnaku 14 okuva lwe yakubye ekirayiro.

Wabula kati kino kisuubirwa okuddayo mu lukiiko lwa CCM olwogerwako nti lwe lusalawo eby'enkomeredde era bwe lunaaba lwagala kabineti ya Magufuli y'eba esigalawo, lujja kuwa Suluhu amagezi addemu alonde abantu beebamu ku bifo byebimu era Palamenti ebakakase bakole emirimu gyabwe nga batandikira Magufuli we yakomye.

  • TAGS:

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lubega akulembedde ne Amatos ku kkooti e Makindye.

Abaali bafera paasita basin...

ABASUUBUZI b'omu Kampala basindikiddwa mu kkomera lwa kugezaako kufera Paasita ssente ezikunukkiriza mu buwumbi...

Spice Diana asiibuludde aba...

Bya Mukasa Lawrence  ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku...

Abakozi ba Rock bavudde mu ...

Bya Phoebe Nabagereka Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga...

FDC evumiridde effujjo erik...

Bya Doreen Namaggala AMYUKA ssabawandiisi w'ekibiina ki FDC, Arnold Kaija asabye bannayuganda okukomya okutiisatiisa...

Abazigu balumbye ekigo ne b...

Abazigu ababadde n'ebijambiya, emitayimbwa saako ennyondo bazinze ekigo kya Kabulamuliro Catholic Parish, ne bamenya...