TOP
  • Home
  • News
  • Abasawo bawabudde ku masiki ezirina okukozesebwa aba PLE

Abasawo bawabudde ku masiki ezirina okukozesebwa aba PLE

Added 22nd March 2021

Abasawo bawabudde ku masiki ezirina okukozesebwa aba PLE.

Abasawo bawabudde ku masiki ezirina okukozesebwa aba PLE.

ABAYIZI 749,811 aba P7 balindiridde okutandika ebigezo byabwe eby'akamalirizo nga March 30, 2021 kyokka wakyaliwo okusoomoozeebwa ku kakwakkulizo minisitule y'ebyobulamu okubeera nga buli muyizi kya buwaze okwambala akakookolo oba kayite masiki.

Eno y'emu ku nkola eyamba obulwadde bwa ssennyiga omukambwe obutasaasaana
mangu. Ekiragiro kya masiki kireetedde abazadde abamu emitima okubennyika nga batya nti abaana baabwe bagenda kubeera batya ne masiki ezaabaweebwa okumala
ebbanga eddene nga tebaziggyaako kibeeraliikiriza. Mulimu abazambala ne balemererwa okussa obulungi.

Dr. Joseph Lusiba.

Dr. Joseph Lusiba ow'eddwaaliro lya Naguru Teenage Centre e Naggulu, omukugu mu kwekebejja abalwadde abateeberezebwa okubeera ne ssennyiga omukambwe, alaze engeri omuyizi gy'ayinza okumalako ne masiki ng'ali mu bigezo n'atafuna buzibu.

Lusiba yategeezezza nti abaana okuva wakati w'emyaka 6 -11 tebagwanidde kwambala masiki kubanga amawuggwe gaabwe tegasobola kubeerawo ng'omukka gw'assa mutono.

Agamba nti ebiseera ebisinga omuntu bw'ayambala masiki etangira omukka okuyingira mu mubiri obulungi. Yategeezezza nti waliwo masiki ezikoleddwa ng'eriko akatundu omukka ogw'omugaso (Oxgyen) we guyita okuyingira mu nnyindo.

Akubiriza abazadde okugula masiki ekikula ekyo baziwe abaana abagenda mu PLE baleme kukaluubirirwa nga bakola ebigezo.

Omuyizi Ng'ayambadde 'shield'.

Dr. Muhereza Mukuzi okuva mu ddwaaliro e Mulago awadde abazadde b'abayizi ba P7 abagenda mu PLE amagezi nti tebalina kuteeka birowoozo byabwe ku masiki ez'olugoye zokka. Waliyo n'ebibikka mu maaso by'osobola okukozesa. Bino bimanyiddwa nga ‘face Shield' .

Omuntu bw'azambala tezirina bulabe bwonna kubanga asigala assa bulungi lwa kuba ffeesi yonna ebeera mu kirawuli. Yakubirizza abazadde okufunira abaana masiki ezibatuuka obulungi baleme kutawaana nga bakola ebigezo.

Yakubirizza abasomesa n'abazadde okuwa abaana omukisa okwerondera masiki ezibatuuka obulungi ate nga tezibakaluubirira nga bazambadde.

ABATEGEKA EBIGEZO BOOGEDDE
Abakungu mu kitongole ekitegeka ebigezo mu ggwanga bategeezezza nti okuggyako okubikka ebifo eby'obulabe nga ennyindo, akamwa, masiki ziyamba mu kutangira
obulwadde okusaasaana.

Dan N. Odongo, omukulu w'ekitongole ekitegeka ebigezo ekya ‘UNEB' yategeezezza nti minisitule ekyagenda mu maaso n'okuteeka amaanyi ku mateeka agaateekebwawo okwewala ssennyiga omukambwe, n'ategeeza nti ebirina okugobererwa abayizi
n'abasomesa bikyateekeddwa ku mwanjo mu kaweefube ow'okulwanyisa obulwadde.

EBYETAAGISA MU KAWEEFUBE ONO
1. Ebifo awanaabirwa engalo: Abayizi abagenda okuyingira mu bibiina we bakolera ebigezo bateekeddwa okusooka okunaaba engalo ne ssabbuuni nga tebanayingira
kutuula we bagenda kukolera bigezo.
2. Okufuuyira: Essomero lirina okufuuyira ne batta obuwuka mu kisenge abayizi mwe bakolera ebigezo buli luvannyuma lw'ekigezo.
3. Okweyawula: Ebigezo by'omulundi guno okwawukana n'eby'ebiseera by'emabega, Odongo agamba nti abayizi bagenda kuweebwa amabanga magazi. Okuva ku muyizi omu okutuuka ku mulala nga balekawo mmita 3.
4. Okupimwa ebbugumu: Buli muyizi n'abakuuma ebigezo balina okukeberebwa ebbugumu ly'omubiri nga bayingira mu kizimbe omukolerwa ebigezo. Azuulibwa ng'alina ebbugumu ery'enjawulo ku balala ateekeddwa okwawulibwa ku banne .
5. Okwewala okukungaana: Mu kiseera kino abayizi tebakkirizibwa kutuula mu bibinja
nga basoma oba nga bakubaganya ebirowoozo ng'etteeka lino lyateekeddwaawo okutangira okukwatibwa kwa ssennyiga omukambwe.
6. Buli muyizi n'ebikozesebwa bye: Ku mulundi guno abayizi si baakukkirizibwa kugabana bikozesebwa buli muyizi alina okujja n'ebibye byonna bye yeetaaga.

  • TAGS:

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sheikh Mulindwa ng'asaaza Idd e Luweero.

'Gavumenti eyalayidde erwan...

Sheikh Mulindwa ku muzigiti gw'e Kasana Luweero. Ba Samuel Kanyike           DISITULIKITI Khadi wa Luweero,...

Lubega akulembedde ne Amatos ku kkooti e Makindye.

Abaali bafera paasita basin...

ABASUUBUZI b'omu Kampala basindikiddwa mu kkomera lwa kugezaako kufera Paasita ssente ezikunukkiriza mu buwumbi...

Spice Diana asiibuludde aba...

Bya Mukasa Lawrence  ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku...

Abakozi ba Rock bavudde mu ...

Bya Phoebe Nabagereka Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga...

FDC evumiridde effujjo erik...

Bya Doreen Namaggala AMYUKA ssabawandiisi w'ekibiina ki FDC, Arnold Kaija asabye bannayuganda okukomya okutiisatiisa...