TOP
  • Home
  • News
  • MAGUFULI: Ddiiru 5 ze yagaana ezaamussa awazibu

MAGUFULI: Ddiiru 5 ze yagaana ezaamussa awazibu

Added 23rd March 2021

Omugenzi Magufuli abadde akulembeza Tanzania n’omuntu waabulijjo.

Omugenzi Magufuli abadde akulembeza Tanzania n’omuntu waabulijjo.

PULEZIDENTI John Pombe Magufuli aliko ddiiru ttaano ze yalinnyamu eggere ezibalirirwa mu buwumbi bwa ddoola. Ddiiru bbiri ze yasembyeyo okusazaamu nga tannaffa yaziweereddeko ebiragiro okubuuliriza ku banene abaazibaddemu.

Olupapula lw'amawulire olwa Citizen, lwategeezezza nti omukolo Magufuli gwe yasembyewo okukola gwabadde mu kibuga Dar es Salaam nga February 26. Kwe
yasinzidde n'alagira bambega b'ekitongole ekirwanyisa enguzi ekya Prevention and Combating of Corruption Bureau (PCCB) okubuuliriza era bakwate abakungu
ba Temeke Municipal Council abalina akakwate ku nsimbi obuwumbi 12 ( mu ssente za Uganda Obuwumbi 18 n'obukadde 960) ezaabulankana.

Ekitongole kye kimu ekya PCCB, Magufuli yakiwadde ekiragiro okubuuliriza ku Minisita Wensonga Ezomunda George Simbachawene , Omuduumizi wa Poliisi Simon Sirro n'abakungu ba Minisitule eyo ku butitimbe bwa ssente z' abaserikale ba poliisi abaawummula nga ssente zaabwe ezo, gavumenti yazifulumya edda kyokka ne zibulira
wakati awo. Ssente zibalirirwa mu buwumbi 29.

Magufuli Ng'atongoza Oluguudo Lw'eggaali Y'omukka Okuva E Morogoro Okudda E Dodoma.

Ebiragiro Magufuli yabiwa ku Lwokutaano nga February 26, enkeera ku Lwomukaaga
nga February 27 n'akola omukolo gw'okulayiza Ssaabawandiisi w'ekibiina kya Chama
Cha Mapinduzi gwe yakomako okulabika mu lujjudde.

Ku lunaku lwe lumu akawungeezi olumbe ne lumubukuba wansi. Teyazzeemu
kulabika mu lujjudde okutuusa lwe baamubise ku Lwokusatu nga March 17.

Ku mukolo gwa February 26, Magufuli yeetaba ku kyemisana we yava okudda mu
maka g'obwapulezidenti aga Dar es Salaam State House. Enkeera n'atandika okulumizibwa mu kifuba n'okussa obubi.

Ensonda z'ebyokwerinda zaategeezezza nti abasawo abakungu mu ndwadde z'omutima
n'amawuggwe baasooka kumujjanjabira mu maka g'Obwapulezidenti wabula embeera
n'egenda ng'esereba ne bamutwala mu ddwaaliro lya Emilio Mzena National Hospital kyokka embeera n'eyongera kutabuka.

Abamu ku bannabyabyufuzi mu kibiina kya Chama Cha Mapinduzi (CCM) baategeezezza omukutu gw'amawulire ogwa Mwananchi Magufuli abadde mu
ntalo n'abanene bangi. Kye bava bawagira okusaba kwa famire ya Magufuli wassibwewo akakiiko okubuuliriza ku bulwadde obwamusse. Balowooza nti kiyinzika
okuba nga Magufuli yattiddwa buttibwa.

Olumu Ku Nguudo Z'alese Zikolebwa.

YAWERA OKUTUNDA ZZAABU WA TANZANIA EBWERU
Magufuli bwe yajja mu buyinza mu 2015, yakizuula nga kkampuni z'Abazungu zaali ze zisinga okufuna mu byobugagga bya Tanzania eby'omu ttaka. Okutereeza kino
yasalawo okukyusa endagaano n'amateeka agafuga okusima zzaabu n'ebyobugagga ebirala eby'omu ttaka n'awa bannansi enkizo.

Kye yasookerako kwe kukola enongoosereza mu mateeka agafuga okusima ebyobugagga by'omu ttaka n'ayongera Gavumenti emigabo n'emisolo gy'esolooza.

Mu March wa 2017, Tanzania yawera okutunda zzaabu ne kkopa ebitali birongoose mu mawanga amalala ng'egamba nti kyali kivaako ensi okufiirizibwa.

Kampuni y'Abangereza eya Acacia Mining esima ebyobugagga eby'omu ttaka y'emu ku zaakosebwa kyokka ne baguma nga balina essuubi nti embeera ejja kudda mu
nteeko ekiseera kyonna.

Kyokka kyababuukako Gavumenti bwe yabaggulako omusango gw'okukola ssente nga bayita mu bukuluppya nga balaga emiwendo gya ssente emifu eri eggwanika
lya Gavumenti. Kino kyali kifiiriza Gavumenti omusolo.

Ekyavaamu kwali kukwata konteyina ezirimu ebyobugagga eby'omu ttaka mu kibuga Dar es Salam nga bagiranga kulaga nti batunda ebintu bitono.

Ekyobugagga kya Ore kyali kimaze ebbanga nga kiweerezebwa mu mawanga ga Asiya ne Bulaaya okukisanuusa, kyokka abantu nga ssente evaayo ntono. Kampuni ya Acacia baagirumiriza nga bwe yali yeebalama okuwa emisolo ng'eyita mu kulangirira
ebyobugagga ebiri wansi ku bye yali esima.

Engeri Gy'azimbye Ekibuga Dar Es Salam Mu Myaka Etaano.

Magufuli yateekawo obukiiko bubiri akamu ne kanoonyereza ku mutindo n'obungi bw'ebyobugagga ebyali birangirirwa. Ebyava mu kunoonyereza byalaga nti kituufu
kkampuni yali efiiriza Gavumenti ensimbi.

Gavumenti yalagira kkampuni okusasula engassi ya buwumbi bwa Amerika 190 ezaabalirirwa mu myaka 17 gye baali bamaze nga bakolera mu ggwanga eryo.

Ddiiri eno yassa Tanzania mu kattu, kkampuni bwe yagiroopa mu kkooti y'ebyobusuubuzi.

YALEMESA CHINA KUDDAABIRIZA EMYALO
Magufuli yasuuza Gavumenti ya China ddiru bbiri ezaali zibalirirwamu ddoola obuwumbi 10.

Eyali Pulezidenti wa Tanzania, Jakaya Kikwete, ono Magufuli gwe yaddira mu bigere mu 2015 yali akoze endagaano ne China okuddaabiriza emyalo ogw'e Dar es Salaam n'ogwe Tanga kyokka Magufuli yazisazzaamu ng'agamba nti yewuyunya engeri Abachina gye baakwata Kikwete obujega ne bamuyingiza mu kintu ekifu. Bwatyo endagaano zombi yazisazzaamu, olwo China n'etabuka.

Magufuli yasooka kukalambira nti oba Abachina baagala nkolagana ya "kifere" baddembe okusazaamu enkolagana ne Tanzania baleme kulowooza nti Tanzania y'efunamu nabo Abachina bafuna. Oluvannyuma yategeeragana ne China era w'afiiridde ng'enkolagana eyongedde okunywezebwa.

EBIRALA MAGUFULI BYE YAWERA
Mu January 2021, Magufuli yawera amalwaliro ga Gavumenti gonna obutaddamu kulaga pulogulaamu z'okwesanyusa okuli ennyimba n'obuzannyo ku ttivi. Yalagira bateekengako pulogulaamu ezikwatagana ku byobulamu kuba abalwadde n'abajjanjabi ze beetaaga.

Bwe yali yaakayingira ofiisi mu 2015, yasazaamu ebikujjuko by'ameefuga n'alagira ssente z'ebikujjuko zeeyambisibwe okugaziya oluguudo olwali lufuuse akattiro mu kibuga kye Dar es Salaam.

Abali bakyamwewunya ate baayongera okuwuniikirira bwe yagaana abakozi ba Gavumenti bonna okuddamu okutambula ebweru w'eggwanga. Yalagira nti bwe wanaaberangawo ensonga eteebereka y'ajja okuwa olukusa yennyini oba akulira abakozi ba Gavumenti.

Kino kyasanyusa nnyo bannansi nga bagamba nti eng'endo zino zaali zibamalira ssente y'omuwi w'omusolo. Bbanka enkulu eya Tanzania yalangirira mu 2017 nga ssente eziwera obukadde bwa doola za Amerika 430 bwe zaali zitaasiddwa wakati wa November wa 2015 okutuuka mu 2016.

Pulezidenti yennyini naye yagaana okutambula era ebbanga lyonna atambudde mu nsi za Afrika taano zokka.

Yawera okuweereza entuula za palamenti ku ttivi. Wadde ng'abooludda oluvuganya kino baakivumirira, kyokka Nape Nnauye minisita w'ebyamawulire yakiwolereza ng'agamba nti okulaga ebya Palamenti olunaku lwonna kyali kitwala ssente nnyingi ate nga n'abantu tebafissaawo budde bukola.

Magufuli nga tannajja mu buyinza, Jakaya Kikwete gwe yaddira mu bigere yassaawo enkola y'okulaga buteteevu ku ttivvi ebiteesebwa mu palamenti n'enkiiko endala enkulu.

Magufuli bwe yajja mu buyinza yawera okuddamu okuweereza entuula za Palamenti obutereevu nga yatandikira ku ya Gavumenti n'oluvannyuma n'agaana ttivi zonna.

  • TAGS:

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sheikh Mulindwa ng'asaaza Idd e Luweero.

'Gavumenti eyalayidde erwan...

Sheikh Mulindwa ku muzigiti gw'e Kasana Luweero. Ba Samuel Kanyike           DISITULIKITI Khadi wa Luweero,...

Lubega akulembedde ne Amatos ku kkooti e Makindye.

Abaali bafera paasita basin...

ABASUUBUZI b'omu Kampala basindikiddwa mu kkomera lwa kugezaako kufera Paasita ssente ezikunukkiriza mu buwumbi...

Spice Diana asiibuludde aba...

Bya Mukasa Lawrence  ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku...

Abakozi ba Rock bavudde mu ...

Bya Phoebe Nabagereka Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga...

FDC evumiridde effujjo erik...

Bya Doreen Namaggala AMYUKA ssabawandiisi w'ekibiina ki FDC, Arnold Kaija asabye bannayuganda okukomya okutiisatiisa...