TOP
  • Home
  • News
  • Bapulezidenti 10 beetabye mu kusabira Magufuli

Bapulezidenti 10 beetabye mu kusabira Magufuli

Added 23rd March 2021

Pulezidenti Uhuru owa Kenya ng’awandiika mu kitabo ky’abakungubazi.

Pulezidenti Uhuru owa Kenya ng’awandiika mu kitabo ky’abakungubazi.

ABAKUNGUBAZI omwabadde ne bapulezidenti b'amawanga ag'enjawulo baakedde kusimba nnyiriri okusiibula John Pombe Magufuli, abadde Pulezidenti wa Tanzania.

Ekibuga Dodoma eky'eggwanga ekyo ekikulu, eggulo kyasiibye mu biwoobe olwa nnamungi w'omuntu eyasiibye ku makubo nga buli omu akola ky'asobola okumusiibula mu ngeri esaanidde. Mwabaddemu abaggyeemu amasaati, bbulawuzi n'engoye endala nga baalirira mu makubo mmotoka y'omulambo eyiteko.

Abajaasi Nga Basitudde Ssanduuke Omuli Omulambo Gwa Magufuli.

ATALINA KKAADI TEYAKKIRIZIDDWA MUNDA MU KISAAWE
Minisita mu ofiisi y'omumyuka wa Pulezidenti, Dr. Bilinith Mahenge yagaanyi abatalina kkaadi okuyingira ekisaawe kya Jamhuri Stadium awaabadde okukungubaga
okukulu n'abasaba babeere ku nguudo okwewala omujjuzo ogususse nga n'ekisaawe kyabaddemu Bapulezidenti b'amawanga.

Enkumi n'enkumi z'abantu zaakwatiridde mu kibuga ate nga n'ekisaawe kikubyeko.
Omulambo gwabadde gutambuzibwa ku kigaali ekyabadde kisikibwa kabangali ey'emikolo emikulu egy'eggwanga nga buli gye kiyita bayimba, ‘jeshi' ‘jeshi'
ekitegeeza omujaasi waffe.

Olwo baabadde batendereza Magufuli by'abakoledde mu myaka etaano gy'abadde
mu ntebe okuva 2015 lwe yagituulamu okutuuka 2020 lwe yalondebwa ku kisanja
ekyokubiri.

Omulambo gwabadde gubikkiddwa mu bendera z'eggwanga ate nga gusitulwa bajaasi b'eggye lya Tanzania People's Defense Force (TPDF).

Ku Ssande, omulambo gwabadde mu kibuga Dar es Salaam enkumi n'enkumi z'abakungubazi gye baamusiibulidde ne bakola akavuyo nga balwana okulaba ku mulambo ekyaviiriddeko abangi okulumwa ne bagenda n'ebisago.

Katikkiro Wa Tanzania, Kassim Majaliwa Yakaabye Ng'akuba Eriiso Evvannyuma Ku Magufuli.

Ekisaawe kya Uhuru Stadium awaabadde omulambo kyakwatiridde abantu
n'okwonooneka ne kyonooneka, bingi ebyataaga okuddaabiriza. Bapulezidenti abaabadde ku mukolo kuliko Uhuru Kenyatta owa Kenya, Cyril Ramaphosa owa South Afrika, Félix Tshisekedi owa DR Congo, Lazarus Chakwera owa Malawi, Mokgweetsi Masisi owa Botswana, Azali Assoumani owa Comoros, Edgar Lungu owa Zambia, Emmerson Mnangagwa owa Zimbabwe, Filipe Nyusi owaMozambique.

Abanene mu Gavumenti y'e Tanzania nga bakulembeddwa Pulezidenti waabwe omupya, Samia Suluhu Hassan nabo baabadde ku mukolo.

Kenyatta eyayogedde mu Luswhayiri, yatenderezza Magufuli olw'ebikulu by'akoze mu kadde akatono n'agamba nti obwegendereza, obwerufu n'okwesiga banne bimuyambye kinene era oyo yakubiddwa engalo ezaabadde tezisalako.

  • TAGS:

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lubega akulembedde ne Amatos ku kkooti e Makindye.

Abaali bafera paasita basin...

ABASUUBUZI b'omu Kampala basindikiddwa mu kkomera lwa kugezaako kufera Paasita ssente ezikunukkiriza mu buwumbi...

Spice Diana asiibuludde aba...

Bya Mukasa Lawrence  ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku...

Abakozi ba Rock bavudde mu ...

Bya Phoebe Nabagereka Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga...

FDC evumiridde effujjo erik...

Bya Doreen Namaggala AMYUKA ssabawandiisi w'ekibiina ki FDC, Arnold Kaija asabye bannayuganda okukomya okutiisatiisa...

Abazigu balumbye ekigo ne b...

Abazigu ababadde n'ebijambiya, emitayimbwa saako ennyondo bazinze ekigo kya Kabulamuliro Catholic Parish, ne bamenya...