TOP
  • Home
  • News
  • Essasi liwabye ne limukwata okugulu

Essasi liwabye ne limukwata okugulu

Added 25th March 2021

Nakakande

Nakakande

OMUSERIKALE w'ekitongole ky'obwannannyini ekikuumi akubye omuntu essasi ku ddwaaliro e Kawempe.

Margaret Nakakande 51, omutunzi wa masiki ku ddwaaliro e Kawempe ye yakubiddwa omuserikale Andrew Kakulu 21, ow'ekitongole kya Asker Security Ltd. bwe yabadde agezaako okutaasa muserikale munne eyabadde aliko gw'alwanagana naye.

Kigambibwa nti olutalo lwonna lwavudde ku muserikale w'eikitongole ky'ekimu omulala ataategeerekese mannya okugezaako okulemesa omu ku bakyala abatunda emmere ku ddwaaliro eri basitoma era okukkakkana kwe kutandika okulwana.

Nakakande yategeezezza nti yabadde ku bbali ng'atunda masiki essasi gye lyamusanze ne limukwata. Yategeezezza nti obutakkaanya bw'abaserikale teyabubaddemu n'akatono.

Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala n'emiriraano, Luke Owoyesigyire yategeezezza nti poliisi yasobodde okutaasa Kakulu ku bantu n'emutwala e Kawempe gye yaggaliddwa.

  • TAGS:

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

NEZIKOOKOLIMA

▶️ Abaana abakoze ebibuuzo ...

▶️  NEZIKOOKOLIMA: Abaana abakoze ebibuuzo ebyakamalirizo musigale nga mukyali baana awaka.  

Ssempijja ng'asomesa abalimi.

Okugattika ebirime kye kiku...

MINISITA w'obulimi obulunzi n'obuvubi, Vincent Ssempijja asinzidde mu disitulikiti y'e Bukomansimbi n'ategeeza...

Abakristaayo lwe basabira wabweru ku Ssande.

Obulabirizi bw'e Namirembe ...

OBULABIRIZI bw'e Namirembe buyingidde mu nkaayana z'ettaka ly'ekkanisa e Kyanja n'ebugumya Abakristaayo  okusigala...

Jonathan McKinstry (wakati) ng'abuulirira Khalid Aucho (ku kkono) ne Mike Azira (ku ddyo).

Micheal Azira naye annyuse ...

MICHEAL Azira agucangira mu kiraabu ya New Mexico United yeegasse ku bassita ba Cranes babiri abakannyuka omupiira...

Nyombi ng'alaga olubuto mw'afulumira.

Afulumira mu kapiira alaajanye

OMUVUBUKA ow'emyaka 32 alaajana oluvannyuma ly'okumulongoosa ekyenda n'atawona nga kati yeetaaga obukadde butaano...