TOP
  • Home
  • News
  • Poliisi ezudde ebizibiti ebirala ku agambibwa okutta abawala

Poliisi ezudde ebizibiti ebirala ku agambibwa okutta abawala

Added 31st March 2021

Musasizi

Musasizi

OMULAMBO gw'omuwala eyasooka okutemulwa e Nakulabye guziikuddwa mu limbo e Bukasa abasawo ba poliisi e Mulago ne bawa abazadde obukwakkulizo okugubawa.

Bazadde ba Macrine Ahereza, 21, baasobeddwa eggulo abasawo ku ggwanika bwe baabagambye nti, wadde gwe mulambo ogwabadde gusigaddewo ku mirambo gy'abawala abana abattibwa e Nakulabye, baabadde balina kusooka kubakebera musaayi okugubawa.

Ahereza, ye yasooka okuttibwa nga kigambibwa yatemulwa omuvubuka Musa Musasizi nga February 22, omulambo n'agutwala e Nateete mu Kitooro zooni gye yagukumako omuliro.

Ffamire ya Ahereza abasawo baagitegeezezza nti, ekyuma ekitereka emirambo e Mulago kyali kifudde nga baali tebasobola kumala bbanga ddene nga baguterese kubanga
gwali gusiridde nga gusigaddeko magulu gokka.

Susan Nuwandinda muto wa Ahereza yagambye nti, basooka ku poliisi ya Old Kampala n'ebagamba bafune ekiragiro kya kkooti ekibakkiriza okuziikula omulambo ne bagenda ku kkooti ya Lubaga - Nateete e Mengo bafune olukusa.

Yagasseeko nti, ebbaluwa baagifunye ku Mmande akawungeezi ne basalawo okukeera ku ggwanika ku Lwokubiri babawe omulambo gw'omuntu waabwe bamutwale
e Isingiro gy'azaalibwa ate ne babagamba balina kusooka okukeberebwa musaayi.

Beemulugunyizza nti, wadde bagoberedde ebiragiro byonna poliisi by'ebadde ebagamba, eky'okubakebera endagabutonde tebaakibagamba era baabadde
tebakyetegekedde.

EBIZIBITI EBIRALA EWA MUSASIZI
Musa Musasizi 23, oluusi eyeeyita Uncle yagambye abaserikale nti, okutemula abawala yakuyigira mu ffirimu era yabalaze ffirimu z'abadde alaba ezirimu obutemu.
Poliisi yasanzeeyo entuumu ya ffirimu n'eziyoola n'ezitwala ng'ebimu ku bizibiti.

Guno, baabadde bamuzzizzaayo mulundi gwamunaana ku muzigo gw'abadde apangisa mu Mujomba Zooni 6 e Nakulabye awagambibwa nti, gye yattidde abawala bonna
bana ne bbebi ow'emyezi esatu.

Yagambye poliisi nti, essimu z'abawala zonna yazisuula mu kabuyonjo gye babadde bakozesa ku mizigo era abaserikale b'ekitongole kya poliisi ekizikiriza omuliro baabomodde kaabuyonjo nga bayambibwako abavubuka abayoola kazambi
ne bamuyoolamu.

Baayoddemu ebipipa 10 nga buli kintu kye baabadde baggyamu nga bakyozaako kazambi olwo nga Musasizi ayogera nnannyini kyo. Baazudde ddensite ya Elizabeth
Mutesi 21 gwe yasembayo okutta nga March 16.

Baazudde ebisumuluzo, ensawo, akapale k'omukazi ak'omunda ak'akatimba, essaawa gye yagambye nti, ya Maclean Ahereza gwe yasooka okutta nga February 22.

Bwe baabadde tebanasimula kaabuyonjo yasoose kutegeeza baserikale nti, ‘omusajja alabika yanfera, namuwa ssente zange n'angamba nti, eddagala lye yali ampadde temusobola kuntegeera.'

Musasizi yakwatibwa wiiki ewedde mu bitundu by'e Wandegeya oluvannyuma lw'abaserikale okukwata banne abagambibwa nti, b'abadde akolagana nabo ne
bamukubira essimu basisinkane mu ka wooteeri akamu e Wandegeya banywemu kacaayi.

Norah Nabirye abasinga gwe baali bamanyi nga Noreen mu Kivvulu gye yali abeera, yattibwa March 15. Omuwala (amanya gasirikiddwa) yagambye nti, Nabirye yali mukwano gwe nga batera okubeera bonna ku saluuni.  Yali muwala mweyagaze nnyo atagwa bubaga era nga buli kabaga k'agendako addayo
n'abanyumiza ebyabaddeyo.

Yagambye nti, mu December nga Ssekukkulu enaatera okutuuka, Musasizi yagenda n'akavangata ka ssente (bwali bwa 50,000/-) n'atumya ebyokulya bwe yamala
n'aggyayo ssente okusasula Nabirye n'aziraba n'amweyogerezaako nti,
‘Ehh Musa bw'ompa ku ssente'. Musasizi yamuwa 20,000/-.

Yagambye nti, yamusuubiza okumutwala ‘out' ku Ssekukulu era n'amusaba ssente 100,000/- asooke akole enviiri era wano nti, Musasizi yamuyita ewuwe e Nakulabye,
Nabirye gye yamala ekiro era bwe yaddayo mu banne, yabalaga ssente 100,000/- ze yali amuwadde. Nabirye ne Musasizi bafuukira ddala baagalana okuva olwo okutuuka lwe yabula nga March 14.

Abalala Musasizi be yatta kuliko, Violet Kansiime yamutta March 13, yattirako n'omwana we Abigail Nakitende ow'emyezi esatu.

Omwogezi w'ekitongole kya poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw'emisango, Charles Mansio Twine yagambye nti, baafunye amawulire okuva mu batuuze nga waliwo
omuwala omulala eyabula era bateebereza nti, naye yandiba nga yamutta omulambo n'abaako w'agusuula.

Yayongeddeko nti, bye baakazuula bagenda kubyeyambisa okutwala Musasizi mu kkooti nga bwe bakyayongera okunoonyereza.

  • TAGS:

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sheikh Mulindwa ng'asaaza Idd e Luweero.

'Gavumenti eyalayidde erwan...

Sheikh Mulindwa ku muzigiti gw'e Kasana Luweero. Ba Samuel Kanyike           DISITULIKITI Khadi wa Luweero,...

Lubega akulembedde ne Amatos ku kkooti e Makindye.

Abaali bafera paasita basin...

ABASUUBUZI b'omu Kampala basindikiddwa mu kkomera lwa kugezaako kufera Paasita ssente ezikunukkiriza mu buwumbi...

Spice Diana asiibuludde aba...

Bya Mukasa Lawrence  ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku...

Abakozi ba Rock bavudde mu ...

Bya Phoebe Nabagereka Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga...

FDC evumiridde effujjo erik...

Bya Doreen Namaggala AMYUKA ssabawandiisi w'ekibiina ki FDC, Arnold Kaija asabye bannayuganda okukomya okutiisatiisa...