TOP
  • Home
  • News
  • Kitalo! Munnamawulire Kavuma Kaggwa afudde

Kitalo! Munnamawulire Kavuma Kaggwa afudde

Added 5th April 2021

Omugenzi Kaggwa

Omugenzi Kaggwa

Kitalo! Munnamawulire Kavuma Kaggwa afudde

Omutaka w'e Kyaggwe Joseph Mukuba Kavuma Kaggwa afudde olwaleero nga busasaana.

Kaggwa 85 abadde muwandiisi w'amawulire okumala emyaka mingi.

 Yayawukanye nab'ennyumba ye ku ssaawa 4:00 ez'ekiro n'agenda okwebaka wabula ku ssaawa nga 9:00 mu matumbi budde agenze okuwulira nga takyasobola kussa bulungi bagezezaako okukola ekisoboka naye ng' embeera eyongera kutabuka era tezze mabega n'afa ku ssaawa nga 11:00 ng'obudde bukya.

Batutegeezezza nti omugenzi abadde atawaanyizibwa obulwadde bwa pulesa okumala ebbanga.

Omulambo guli ku Rhino Funeral Home, era ng'enteekateeka z'okumuziika zaakulangirirwa gye bujja

Kaggwa yawandiikirako amawulire New Vision okumala ekiseera.

Yaliko omuwabuzi wa Kabaka ku nsonga z'e Mmengo era yakolako mu Kenya Airways.

Kaggwa  ayogerwako ng'omulwanirizi w'eddembe ly'obuntu era eyalwanirira ennyo okwenunula kwa Uganda ng'ali mu buwanganguse e Kenya.

Kigambibwa nti abadde munywanyi wa Puledidenti Museveni.

  • TAGS:

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sheikh Mulindwa ng'asaaza Idd e Luweero.

'Gavumenti eyalayidde erwan...

Sheikh Mulindwa ku muzigiti gw'e Kasana Luweero. Ba Samuel Kanyike           DISITULIKITI Khadi wa Luweero,...

Lubega akulembedde ne Amatos ku kkooti e Makindye.

Abaali bafera paasita basin...

ABASUUBUZI b'omu Kampala basindikiddwa mu kkomera lwa kugezaako kufera Paasita ssente ezikunukkiriza mu buwumbi...

Spice Diana asiibuludde aba...

Bya Mukasa Lawrence  ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku...

Abakozi ba Rock bavudde mu ...

Bya Phoebe Nabagereka Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga...

FDC evumiridde effujjo erik...

Bya Doreen Namaggala AMYUKA ssabawandiisi w'ekibiina ki FDC, Arnold Kaija asabye bannayuganda okukomya okutiisatiisa...