TOP
  • Home
  • News
  • Okufa kwa Ssaabasumba kutukosezza mu biwundu - Omulabirizi Tamale

Okufa kwa Ssaabasumba kutukosezza mu biwundu - Omulabirizi Tamale

Added 5th April 2021

Omulabirizi Tamale n'abamu ku bannaddiini mu kusaba kwa Paasika.

Omulabirizi Tamale n'abamu ku bannaddiini mu kusaba kwa Paasika.

OMULABIRIZI wa West Buganda, Rt. Rev Henry Katumba Tamale ye yakulembeddemu okusinza kwa Paasika mu Lutikko ya Yokaana e Kako mu Masaka n'akungubagira Ssaabasumba.

 Yayambiddwaako Rev. Can Gaster Nsereko, Can. Elizabeth Julia Tamale n'abalala.

Bp. Tamale yagambye nti Paasika y'omulundi guno etuukidde wakati mu kukungubagira abadde Ssaabasumba wa Kampala Dr. Cyprian Kizito Lwanga n'abattiddwa gattako abatulugunyizibwa mu ngeri ezitali zimu.

 Yagambye nti okufa kwa Dr. Lwanga ng'abe Masaka kubakosezza mu biwundu by'okufa kw'Omusumba omuwummuze, John Baptist Kaggwa gwe bakaziika mu bbanga ttono.

 Yasabye Katonda  okugumya emitima gya buli omu naddala ku lunaku luno olw'Amazuukira okujjukirirwa okubonaabona kwa Yesu Kristo bye yayitamu naye oluvannyuma n'awangula amagombe.

 N'agamba nti amazuukira ga Kristo  ly'essuubi lya buli muntu anyigirizibwa nti bw'obikwasa Katonda  takumalaamu ssuubi ng'enkomerero ya byonna eriyo obuwanguzi.

Bp. Tamale yasabidde Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi nti Mukama amutuuse bulungi ku majaguza ge ag'emyaka 66 era amwongere obuwangaazi ng'alamula bulungi Obuganda nga n'enteekateeka ze zonna ez'okukulaakulanya abantu be  zibeemu omukisa.

  • TAGS:

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lubega akulembedde ne Amatos ku kkooti e Makindye.

Abaali bafera paasita basin...

ABASUUBUZI b'omu Kampala basindikiddwa mu kkomera lwa kugezaako kufera Paasita ssente ezikunukkiriza mu buwumbi...

Spice Diana asiibuludde aba...

Bya Mukasa Lawrence  ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku...

Abakozi ba Rock bavudde mu ...

Bya Phoebe Nabagereka Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga...

FDC evumiridde effujjo erik...

Bya Doreen Namaggala AMYUKA ssabawandiisi w'ekibiina ki FDC, Arnold Kaija asabye bannayuganda okukomya okutiisatiisa...

Abazigu balumbye ekigo ne b...

Abazigu ababadde n'ebijambiya, emitayimbwa saako ennyondo bazinze ekigo kya Kabulamuliro Catholic Parish, ne bamenya...