TOP
  • Home
  • News
  • Abasawo 7 be beekebezze omulambo gwa Ssaabasumba

Abasawo 7 be beekebezze omulambo gwa Ssaabasumba

Added 5th April 2021

Omugenzi Ssaabasumba Lwanga

Omugenzi Ssaabasumba Lwanga

OMULAMBO gwa Dr. Cyprian Lwanga gukebeddwa abasawo abakugu musanvu abakoze lipoota ku kyamusse.

Yasangiddwa ng'afiiridde mu buliri ku Lwomukaaga ku makya.

Omulambo gwatwaliddwa mu ddwaaliro e Nsambya gye gwaggyiddwa okugutwala e Mulago akawungeezi. Abakugu abaakoze ku mulambo baakuliddwa Dr. Sam Kalungi. Baasuze bakola ne bamaliriza eggulo (ku Ssande) ku makya.

Baakoze lipoota eyakwasiddwa Fr. Andrew Ssekitooleko ku lwa Eklezia, kkopi n'eweebwa ffamire ate endala n'ekwasibwa Gavumenti. Akulira eggwanika Richard Ssentudde naye yabaddewo.

Ensonda zaategeezezza nti ebyazuuliddwa bijja kutegeezebwa abantu mu butongole. Kyokka kigambibwa nti bye baazudde biraga ng'okufa kwe kwekuusa ku mutima kusirika.

Dr. Lwanga aludde ng'atawaanyizibwa ssukkaali n'omutima. Oluvannyuma omulambo gwakwasiddwa kkampuni enziisi eya Uganda Funeral Service gye gujja okuggyibwa enkya ku Lwokubiri okutwalibwa e Kyabakadde.

Omulambo gwayambaziddwa ebyambalo bye ebitongole ebya Ssaabasumba. E Mulago, ebyokwerinda byanywezeddwa ebbanga lyonna lye gwamazeeyo.

Poliisi egguddewo fayiro GEF 04/2021 okunoonyereza ku nfa ya Dr. Lwanga. Buli alina ky'amanyi ayitiddwa okukola sitatimenti ku Old Kampala.

Bino biddiridde poliisi okusindika abakugu e Lubaga nga baakafuna amawulire ga Lwanga okufa. Kyokka baasanze omulambo baguggyeewo ne bagutwala mu ddwaaliro. Omuntu bw'afa ekibwatukira naddala omututumufu nga Lwanga, poliisi esooka kuzuula kituufu ekimusse. Ekifo w'afiiridde (scene) tekikkirizibwamu bantu balala okutuusa nga poliisi efunye bye yeetaaga.

Kyokka ogwa Lwanga gwaggyiddwaawo Bafaaza nga tebalinze poliisi.
Omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Fred Enanga yagambye nti balinze lipoota y'abasawo balyoke bategeeze eggwanga.

Abaserikale baagambye nti mu kisenge kya Lwanga mwe yafiiridde baasanzeemu ebbaluwa kwe babadde bamujjanjabira mu malwaliro okuli Lubaga, Ebenezer, Kadic ne Nakasero. Kigambibwa nti ebbaluwa ziraga ng'abadde ku ddagala lya ssukkaali n'omutima nga n'agamu ku malwaliro abadde yaakagendayo okumukebera n'okumujjanjaba.

Kigambibwa nti omwaka oguwedde yateganyizibwa nnyo obulwadde mu biseera by'omuggalo gwa corona.

  • TAGS:

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lubega akulembedde ne Amatos ku kkooti e Makindye.

Abaali bafera paasita basin...

ABASUUBUZI b'omu Kampala basindikiddwa mu kkomera lwa kugezaako kufera Paasita ssente ezikunukkiriza mu buwumbi...

Spice Diana asiibuludde aba...

Bya Mukasa Lawrence  ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku...

Abakozi ba Rock bavudde mu ...

Bya Phoebe Nabagereka Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga...

FDC evumiridde effujjo erik...

Bya Doreen Namaggala AMYUKA ssabawandiisi w'ekibiina ki FDC, Arnold Kaija asabye bannayuganda okukomya okutiisatiisa...

Abazigu balumbye ekigo ne b...

Abazigu ababadde n'ebijambiya, emitayimbwa saako ennyondo bazinze ekigo kya Kabulamuliro Catholic Parish, ne bamenya...