TOP
  • Home
  • News
  • Obubaka bwa Ssaabasumba bwe yalese

Obubaka bwa Ssaabasumba bwe yalese

Added 5th April 2021

Omugenzi Ssaabasumba

Omugenzi Ssaabasumba

Dr. Lwanga yabadde ategese obubaka bw'okusoma ku Paasika e Lubaga. Bwasomeddwa Viika Genero wa Kampala, Msgr. Charles Kasibante:

Tusaasira abafiiriddwa bonna n'abafiiriddwaako abantu baabwe olwa corona. Tubasaasira olw'okufa kwa Dr. Pombe Magufuli owa Tanzania.

Tunyolwa olwa Bannayuganda abasibibwa mu makomera nga tebaweereddwa mukisa kutwalibwa mu kkooti.

Nga tujaguza Amazuukira ga Yezu Kristu, twagala abantu bonna abali mu makomera olw'ebyobufuzi bayimbulwe awatali kakwakkulizo konna. Abavubuka abakuumirwa mu makomera nga tebasindikiddwayo kkooti, bwe baba balina emisango twagala ababalina bagoberere ssemateeka babatwale mu kkooti bawozesebwe.

Okubaggalira, okubatulugunya n'okubakugira okuwulirizibwa mu mazima kyongera kuleeta nnyiike, obusungu n'okutyoboola eddembe lyobuntu.

Tusaba Gavumenti okukola ku binyigiriza abavubuka mu kifo ky'okubaggalira mu makomera awatali kuwoozesebwa mu mateeka.

Mbasaba tulowooze nnyo ku bisoomooza n'ebinyigiriza abavubuka era tubinogere eddagala eryenkomeredde ku lw'obulungi bw'eggwanga lyaffe. Ebisoomooza kuliko eby'okuwamba n'okutemula Bannayuganda.

Tuvumirira ettemu erikolebwa ku Bannayuganda abatalina musango. Musa Musaasizi okutta abawala bana ne bbebi e Nakulabye kiruma kubanga tewali muntu yenna okuggyako Katonda alina buyinza kusaanyawo bulamu bwa munne.

Tusaba Bannayuganda n'ebitongole ebikuuma ddembe okussa ekitiibwa mu ddembe ly'obuntu n'enfuga y'amateeka mu bigambo ne mu bikolwa. Tutumbule emirembe n'obwekanya ku mitendera gyonna.

Nzijukiza Abakristu okwefumiitiriza ku makulu g'Amazuukira. Olunaku luno lukulu nnyo mu Eklezia nga lutujjukiza okuzuukira kwa Yezu Kristu ‘ensibuko y'okukkiriza kwaffe.

  • TAGS:

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lubega akulembedde ne Amatos ku kkooti e Makindye.

Abaali bafera paasita basin...

ABASUUBUZI b'omu Kampala basindikiddwa mu kkomera lwa kugezaako kufera Paasita ssente ezikunukkiriza mu buwumbi...

Spice Diana asiibuludde aba...

Bya Mukasa Lawrence  ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku...

Abakozi ba Rock bavudde mu ...

Bya Phoebe Nabagereka Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga...

FDC evumiridde effujjo erik...

Bya Doreen Namaggala AMYUKA ssabawandiisi w'ekibiina ki FDC, Arnold Kaija asabye bannayuganda okukomya okutiisatiisa...

Abazigu balumbye ekigo ne b...

Abazigu ababadde n'ebijambiya, emitayimbwa saako ennyondo bazinze ekigo kya Kabulamuliro Catholic Parish, ne bamenya...