TOP
  • Home
  • News
  • Nkomawo okwesimbawo ekisanja ekyokusatu - Magogo

Nkomawo okwesimbawo ekisanja ekyokusatu - Magogo

Added 6th April 2021

Magogo ng'ayogera mu lukungaana lwa bannamawulire.

Magogo ng'ayogera mu lukungaana lwa bannamawulire.

PULEZIDENTI wa FUFA Ying.  Moses Magogo alangiridde nga bwagenda okwesimbawo mu kisanja ekyokusatu mu August omwaka guno. 

Bino abyogeredde ku wooteeri ya Jevine Hotel e Lubaga, Kampala ku mukolo gw'abannamawulire n'abategeeza nga bwagenda okudda mu ntebe. 

" Wadde nga ndi mu palamenti, kino kigenda ku nsobozesa okuweereza omupiira kuba ensonga zaffe zijja  kunyanguyira okuzanja mu maaso ga babaka bannange," Magogo bwe yagambye. 

Asabye buli muntu yenna ayagala okwesimbawo mu kifo ky'obwapulezidenti wa FUFA ajje agezese emikisa gye.  

Magogo abadde mu ntebe okuva 2013 era giweze emyaka munaana bukya Dr. Lawrence Mulindwa alekulira kuba yagaana okwesimbawo ekisanja ekyokusatu. 

Ebisanja ebibiri byafuze abadde awangula nga tavuganyiziddwa era Mujib Kasule, omubaka wa Kampala Central Muhammad Nsereko, Robert Kabushenga n'omubaka Allan Ssewanyana be baali baagala entebe mu kisanja ekiwedde wabula n'abawangula. 

Okulonda kw'omwaka guno kwa kubeerawo nga August .

 

 

  • TAGS:

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abasomesa nga baweebwa ebigezo by'amasomero gaabwe.

Enkuba teremesezza bigezo k...

Wadde ng'enkuba yakedde kutonnya mu bitundu by'omu disitulikiti y'e Kalungu teyalemesezza bakulu b'amasomero kunona...

Omuzibizi wa Arsenal eyafun...

Tierney yafunye obuvune mu vviivi era asuubirwa okumala ebbanga eriwerako nga tazannya wabula Arteta agamba nti...

Bassita ba Leicester bameny...

TTIIMU ya Leicester eraze lwaki abazannyi baayo basatu baayo basatu tebaazannye mupiira gwa Premier, West Ham bwe...

Wabaddewo vvaawompiteewo n...

WABADDEWO vvaawompiteewo ku kisaawe kya MTN Arena e Lugogo ng'abakungu ba FUFA balondesa abakulembeze b'omupiira...

Abamu ku bayizi be basabidde.

Abayizi ba S.6 babuuliriddw...

ABAYIZI ba S6 babuuliriddwa okutwala ebigezo eby'akamalirizo bye batandika enkya ng'ensonga kuba kati batandise...