TOP
  • Home
  • News
  • Ekitongole ky'omusolo kimezze Bobi Wine mu gw'emmotoka, looya we abigaanyi

Ekitongole ky'omusolo kimezze Bobi Wine mu gw'emmotoka, looya we abigaanyi

Added 6th April 2021

Bobi

Bobi

EKITONGOLE ekisolooza omusolo ekya URA kimezze Robert Kyagulanyi ( Bobi Wine) mu musango gw'emmotoka ye etayitamu masasi, Kkooti Enkulu bw'egaanyi okuyisa ekiragiro ky'ekiseera ekigaana URA okuddamu okukebera emmotoka eno.

Kkooti egambye nti yadde nga Bobi yagitegeeza nga emmotoka eno bw'emuyamba mu byentambula n'ebyobukuumi, alemeddwa okulaga nti singa emuggyibwako n'eweebwa aba URA okuddamu okugikebera ajja kukosebwa nnyo mu ngeri gavumenti gy'etasobola kumuliyirira.

Omulamuzi Emmanuel Baguma agambye nti wadde nga tannasala musango oba nga URA erina obuyinza okuddamu okukebera emmotoka ya Bobi omulundi ogwokubiri, tasobola kuyisa kiragiro kya kiseera kigaana URA kuddamu kugikebera kubanga  Bobi talaze ngeri gy'ajja kukosebwamu.

Bobi

Ensala ya kkooti kati ewadde URA omwagaanya okubowa emmotoka ya Bobi baddemu okugikebera singa aba agaanyi okugiwaayo mu ddembe kubanga tewali kiragiro kya kkooti kibagaana.

Kyokka ba looya ba Bobi nabo  bategeezezza nga  bwe bagenda okujulira okuwakkanya ensala ya kkooti.

Emmotoka ya Bobi ey'ekika kya Toyota Land Cruiser V8 nnamba UBJ 667F etayitwamu masasi ezze eyogeza abantu ebigambo olw'engeri  gye yatuukamu mu ggwanga n'eyita ku bakugu ba URA abasooka okugikebera nga tebategedde nti teyitwamu masasi.

Aba URA baasooka ne bakera emmotoka eno era n'egigerekera n'omusolo kyokka oluvannyuma lwa Bobi okuvaayo n'ategeeza eggwanga 'nti emmotoka teyitamu masasi, bamulagira agizeeyo bagikebere kyakyagaanyi.

 

  • TAGS:

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lubega akulembedde ne Amatos ku kkooti e Makindye.

Abaali bafera paasita basin...

ABASUUBUZI b'omu Kampala basindikiddwa mu kkomera lwa kugezaako kufera Paasita ssente ezikunukkiriza mu buwumbi...

Spice Diana asiibuludde aba...

Bya Mukasa Lawrence  ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku...

Abakozi ba Rock bavudde mu ...

Bya Phoebe Nabagereka Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga...

FDC evumiridde effujjo erik...

Bya Doreen Namaggala AMYUKA ssabawandiisi w'ekibiina ki FDC, Arnold Kaija asabye bannayuganda okukomya okutiisatiisa...

Abazigu balumbye ekigo ne b...

Abazigu ababadde n'ebijambiya, emitayimbwa saako ennyondo bazinze ekigo kya Kabulamuliro Catholic Parish, ne bamenya...