TOP
  • Home
  • News
  • Ebbaala zigyemye ne ziggulawo ku Paasika

Ebbaala zigyemye ne ziggulawo ku Paasika

Added 6th April 2021

Ebyana nga binyumirwa obulamu e Kamwokya.

Ebyana nga binyumirwa obulamu e Kamwokya.

EBBAALA zeewaggudde ku mateeka agaayisibwa poliisi ku kutegeka ebivvulu ku lunaku lw'Amazuukira.

Ekivvulu ekyamaanyi, kyabadde ku bbaala ya Big Zone e Nansana awaabadde wategekeddwa ekya ‘Save Evelyn Love' nga kino kyabadde kyakusonda ssente ez'okuyamba omuyimbi Evelyn Lagu okumukyusa ensigo.

Ekivvulu kino kyasooka kutegekebwa wiiki ewedde poliisi n'ekirinnyamu eggere ne kisazibwamu, abategesi ne bakizza ku lw'Amazuukira.

Abayimbi ab'amaanyi bonna baabadde basuubirwa okubeerayo wabula tebaasobodde. Wabaddeyo Willy Mukaabya n'abazannya emizannyo mu kibiina kya Zubair Family n'abayimbi abalala abato era ekivvulu kyakomekkerezeddwa ku ssaawa nga ssatu ez'ekiro.

Ku Golden Inn e Kamwokya, nabo beewaggudde ne bategeka ekivvulu nga banjula omwolesi w'emisono Fabiola Anita eyaweereddwa obwa ambassada w'ebizigo bya Minama era omuyimbi Pia Pounds ye yasanyusizza abantu.

Judith Heard (ku Kkono) Ne Mukwano Gwe.

Abryanz (ku Kkono) Ng'awayamu Ne Munywaanyi We.

Pia Pounds Ng'akuba Abadigize Emiziki.

Fabiola Anita Ng'atuuka

Abali b'ensimbi mu Kampala abaakulembeddwa Judith Heard n'abawala ssaako abavubuka abatagwa bubaga beeyiye mu kivvulu kino ekyabadde kitegekeddwa
omutunzi w'emisono Abryanz era ekifo kyajjudde ne kikubako.

Ebbaala endala mu Kampala n'emiriraano nazo zaategese ebivvulu okuva ku Lwokutaano wadde nga poliisi ng'eyita mu mwogezi waayo mu Kampala n'emiriraano, Patrick Onyango yalabula abantu obutagezaako kutegeka bivvulu kubanga
byali tebinakkirizibwa kuddamu.

Ku Lwokutaano, amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala n'emirraano, Luke Owoyesigyire yategeeza bannamawulire nti, baali bongedde amaanyi mu bikwekweto ku bbaala ezitagondera biragiro bya minisitule ya byabulamu era baaliko abantu bangi be baali bakutte.

Yayongerako nti, e Wandegeya baakwata abantu 48 mu Mulago Business Center nga beesanyusa, e Katwe baakwata 47 ku bbaala ya Happy Boys n'ebbaala endala.

  • TAGS:

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abasomesa nga baweebwa ebigezo by'amasomero gaabwe.

Enkuba teremesezza bigezo k...

Wadde ng'enkuba yakedde kutonnya mu bitundu by'omu disitulikiti y'e Kalungu teyalemesezza bakulu b'amasomero kunona...

Omuzibizi wa Arsenal eyafun...

Tierney yafunye obuvune mu vviivi era asuubirwa okumala ebbanga eriwerako nga tazannya wabula Arteta agamba nti...

Bassita ba Leicester bameny...

TTIIMU ya Leicester eraze lwaki abazannyi baayo basatu baayo basatu tebaazannye mupiira gwa Premier, West Ham bwe...

Wabaddewo vvaawompiteewo n...

WABADDEWO vvaawompiteewo ku kisaawe kya MTN Arena e Lugogo ng'abakungu ba FUFA balondesa abakulembeze b'omupiira...

Abamu ku bayizi be basabidde.

Abayizi ba S.6 babuuliriddw...

ABAYIZI ba S6 babuuliriddwa okutwala ebigezo eby'akamalirizo bye batandika enkya ng'ensonga kuba kati batandise...