
Omusumba Jjumba ne bannaddiini nga basabira omwoyo gwa Ssaabasumba.
Omusumba w'e Masaka Severus Jjumba y'akulembeddemu mmisa y'okusiibula Ssaabasumba w'Essaza ekkulu erya Kampala, Dr. Cyprian Kizito Lwanga ku kiggwa ky'Abajulizi e Namugongo.
Agambye nti Eklezia eri mu kiyongobero olw'okufiirwa Abasumba babiri mu bbanga lya myezi ebiri gyokka.
Ayogedde ku Dr.Lwanga omusajja owa maanyi era eddoboozi ly'abatalina bwogerero.
Omukolo gwetabiddwaako ab'ebitiibwa ab'enjawulo okuli; baminisita okuva mu gavumenti eya wakati ne Mmengo, ababaka ba Palamenti ,bannadiini, n'Abakristu okuva mu bitundu eby'enjawulo.
Omusumba Jjumba asoose kukola mikolo gy'okuteeka ebituukuvu ku ssanduuko y'omugenzi okuli ekitabo ekitukuvu, omusalaba, ekikompe n'ebirala.