
Byabashaija (mu yunifoomu) , Namyalo ne Atilio Pacifici nga bawaayo ebintu eri abasibe.
AKULIRA ekitongole ky'amakomera, Dr. Johnson Byabashaija awakanyizza eby'okukweka abasibe okuva ku benganda zaabwe bwe baba bagenze mu makomera gye basibiddwa okubalaba.
Okwogera bino abadde ku mukolo ogubadde mu kkomera ly'e Luzira, ab'ekitongole ekirwanirira abasibe okufuna obwenkanya ekya Penal Reform International Africa bwe babade badduukiridde abasibe, abasawo n'abaserikale b'amakomera n'ebikozesebwa ebyeyambisibwa okutangira obulwadde bwa Covi 19.
Byabashaija agambye nti waliwo omukungu omu eyagamba nti baggya abasibe abamu mu makomera ne batwalibwa mu makomera amalala nga tebaagala baaluganda lwabwe kubalaba n'agamba nti kino si kituufu .
Agambye nti tewali muntu yenna gwe bagaana kukyalira musibe mu kkomera kasita abeera ng'alina satifikeeti eraga nti bamukebera nga talina bulwadde bwa Covid 19.
Doreen Namyalo Kyazze omukwanaganya w'ekitongole kya Penal Reform International Africa mu Africa agambye nti bazze bakolagana n'ekitongole ky'amakomera okulaba ng' eddembe lya basibe terityobolebwa .
Agambye nti mu kiseera ky'omuggalo ekitongole kya makomera kyafuna okusomozezebwa olw'okuba nga kkooti ezimu zaggalwa nga basibe tebasobalanga kuwolerezebwa wamu n'okutwalibwa mu kkooti .
Omubaka we kibiina kya mawanga ga Bulaaya mu Uganda Atilio Pacifici yeemulugunyiza ku mujjuzo mu makomera mu Uganda n'agamba nti kino kyetaaga okukolwako mu bwangu.