
Abasuubuzi ba Owino nga basimbye ennyiriri basobole okulonda.
Okulonda kw'abasuubuzi mu katale ka Owino olwaleero kuyingidde olunaku olw'omunaana ng'abasuubuzi mu biyumba ebyenjawulo balonda abakulembeze baabwe.
Ssaalongo Robson Sonko akulira akakiiko akakola omulimu gw'okulondesa abasuubuzi agamba nti okulonda kwatandika nga March 31 omwezi oguwedde. Sonko agamba nti buli lunaku balondesa ebiyumba ebitakka wansi wa mukaaga era nga kati ebiyumba 38 ku biyumba 108 ebiri mu katale kano bye bimaliriza okulonda.
Ategeezezza nti okulonda kuno babadde tebannakusangamu buzibu bwonna kubanga abasuubuzi bakujjumbidde ate tebakutaddemu ffujjo.
Ye Nagujja amanyiddwa ennyo mu katale kano nga ‘freedom fighter' omu ku bammemba ku kakiiko kano akalondesa agamba nti musanyufu bya nsusso kubanga abakyala bajjumbidde okulonda okugenda mu maaso era n'agamba nti bakukozesa obukulembeze obuliwo okulwanirira abakyala abakolera mu katale kano ababadde banyigirizibwa.
Omu ku bawunguzi abalondedwa olwaleero ng'akulembera ekiyumba ekya Mubiru ekibeeramu abasuubuzi abassa ebinyeebwa asiimye abasuubuzi olw'okumussamu obwesige era n'ategeeza nti ensonga omuli obuyonjo, ebyowerinda n'enkulaakulana y'abasuubuzi waakubissaako nnyo amaanyi.