TOP
  • Home
  • News
  • Omugenzi Ssaabasumba Lwanga waakuziikibwa abantu 500

Omugenzi Ssaabasumba Lwanga waakuziikibwa abantu 500

Added 7th April 2021

Omugenzi Ssaabasumba Lwanga

Omugenzi Ssaabasumba Lwanga

ENTEEKATEEKA z'okuziika Ssaabasumba Dr .Cyprian Kizito Lwanga ziwedde, olukiiko oluzikolako bwe lutegeezezza ng' okumuziika bwe kugenda okwetabwako abantu abalondemu. 

Akulira eby'amawulire mu Ssaza ekkulu erya Kampala, Fr. Nicholas Mulumba  agambye nti okuziika Ssaabasumba Lwanga kusuubirwa okwetabwako abantu 500 omuli; Bannaddiini n'abantu abalondemu bokka okusobola okutangira okusaasaana kw'ekirwadde kya Covid 19. 

"Olw'embeera y'ekirwadde kya Covid 19 okuziika Ssaabasumba Lwanga kwakwetabako bannaddiini n'abakungu abalondemu bokka. Tusaba mukkirize enteekateeka eno kuba omugenzi abadde atukubiriza nnyo okwewala ekirwadde kino era ng' aleeta abasawo mu Mmisa okutusomesa, tetwagala ate wabeewo afuna kirwadde kino eno" Fr. Mulumba bwe yagambye. 

Yagambye nti okuziika Ssaabasumba Lwanga abantu baakugoberera ku mitimbagano n'emikutu gy'amawulire egigenda okulaga okuziika obutereevu. 

Yategeezezza nti Babwannamukulu b'Ebigo eby'enjawulo n'ebitongole  basabiddwa okutegeka  Mmisa ku Lwokuna okusobola okusabira omwoyo gwa Ssaabasumba Lwanga. 

Yagasseeko nti ekitambiro kya Mmisa kyakukulemberwamu Omusumba w'e Mityana Anthony Zziwa nga kyakutandika ku 4:00 ez'oku makya wabula nga ku ssaawa 1:00 ez'oku makya basuubira abagenyi abayite okutuuka ate okuva ku ssaawa 2:00 okutuuka ku 3:30 abakungubazi bamukubeko eriiso evannyuma. 

Yagambye nti ku ssaawa 8:30 basuubira omubiri gwa Ssaabasumba okuteekebwa mu nnyumba ye ey'olubeerera mu Eklezia munda. 

 Yasabye abakungubazi okugoberera n'okulambikibwa abaserikale okusobola okwewala okutaataganyizibwa.  

  • TAGS:

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abasomesa nga baweebwa ebigezo by'amasomero gaabwe.

Enkuba teremesezza bigezo k...

Wadde ng'enkuba yakedde kutonnya mu bitundu by'omu disitulikiti y'e Kalungu teyalemesezza bakulu b'amasomero kunona...

Omuzibizi wa Arsenal eyafun...

Tierney yafunye obuvune mu vviivi era asuubirwa okumala ebbanga eriwerako nga tazannya wabula Arteta agamba nti...

Bassita ba Leicester bameny...

TTIIMU ya Leicester eraze lwaki abazannyi baayo basatu baayo basatu tebaazannye mupiira gwa Premier, West Ham bwe...

Wabaddewo vvaawompiteewo n...

WABADDEWO vvaawompiteewo ku kisaawe kya MTN Arena e Lugogo ng'abakungu ba FUFA balondesa abakulembeze b'omupiira...

Abamu ku bayizi be basabidde.

Abayizi ba S.6 babuuliriddw...

ABAYIZI ba S6 babuuliriddwa okutwala ebigezo eby'akamalirizo bye batandika enkya ng'ensonga kuba kati batandise...