TOP
  • Home
  • News
  • Fr. Ssajjabbi annyonnyodde obulombolombo obukoleddwa ku Ssaabasumba

Fr. Ssajjabbi annyonnyodde obulombolombo obukoleddwa ku Ssaabasumba

Added 7th April 2021

Abasumba nga banyokeza akabaani okwetoloola mulambo gwa Ssaabasumba

Abasumba nga banyokeza akabaani okwetoloola mulambo gwa Ssaabasumba

OMUSUMBA Severus Jjumba bwe yabadde tannatandika Mmisa ya kusabira mwoyo gwa Ssaabasumba Dr. Cyprian Kizito Lwanga ku kiggwa ky'abajulizi e Namugongo, yasoose kukola mikolo egikulembera okuziika Abepisikopi.

Yasoose kumuteekako ebintu by'abadde akozesa ku mirimu gye egy'obwa Ssaabasumba omwabadde ekikompe, ekitabo Ekitukuvu, omusaalaba, ekyambalo kya Sitoola n'omuggo Ebyobusumba.

Nga biwedde, omusumba Jjumba eyakulembedde banne, baamansidde omubiri gwa Ssaabasumba amazzi g'omukisa oluvannyuma ne bagunyokeza akabaani.

Jjumba nga ye musumba w'e Masaka, olwamaze okukola ebyo, yakulembedde Mmisa ku ssaawa 4:00 ez'oku makya okusabira omwoyo gwa Dr. Lwanga.

Msgr. Gerald Kalumba oluvannyuma yategeezezza Bukedde nti ebintu ebirala Ssaabasumba by'abadde akozesa byonna, bijja kuzingibwako biterekebwe awaterekebwa eby'ebijjukizo mu tterekero ly'ebikadde eryabbulwamu Ssekabaka Muteesa I ku Lutikko e Lubaga.

Ebintu bye ebirala omuli engoye bayinza okuzigabira abantu abalala ababa bazaagadde ne bazambala.

Fr. Mark Richard Ssajjabbi Bwanamukulu w'e Masajja yagambye nti, buli kintu ekyateekeddwa ku mulambo gwa Ssaabasumba kirina amakulu n'agamba nti,

Ekitabo ekitukuvu kitegeeza ekigambo kya Katonda ekituwa obulamu, Omusumba ky'abadde ayigiriza era ky'agoberera.

Omusaalaba yagambye gutegeeza nti, Omukristu yenna okuva lw'abatizibwa, olugendo lwe lwonna yeetikka omusalaba okutuusa lw'afa.

Ekikompe kitegeeza nti, Omusaseredooti abadde aweereza ebitambiro bya mmisa

Sitoola yagambye etegeeza obuyinza obuweebwa Omuseseredooti

Ate omuggo yagambye nti, gulaga nti, Omusumba abadde agweyambisa okulunda eggana lya Kristu.

Okunyokeza akabaani yagambye nti, bakikola essaala esomebwa esobole okutuuka ewa Katonda ng'ejjudde akawowo akalungi.

Mu ntaana yagambye nti, nayo banyokezaayo akabaani okugitukuza n'oluvannyuma ne bamansirayo amazzi ag'omukisa.

Kyokka bano bombi baagambye nti tebeekakasa oba omuggo bamuziika nagwo.

 

  • TAGS:

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lubega akulembedde ne Amatos ku kkooti e Makindye.

Abaali bafera paasita basin...

ABASUUBUZI b'omu Kampala basindikiddwa mu kkomera lwa kugezaako kufera Paasita ssente ezikunukkiriza mu buwumbi...

Spice Diana asiibuludde aba...

Bya Mukasa Lawrence  ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku...

Abakozi ba Rock bavudde mu ...

Bya Phoebe Nabagereka Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga...

FDC evumiridde effujjo erik...

Bya Doreen Namaggala AMYUKA ssabawandiisi w'ekibiina ki FDC, Arnold Kaija asabye bannayuganda okukomya okutiisatiisa...

Abazigu balumbye ekigo ne b...

Abazigu ababadde n'ebijambiya, emitayimbwa saako ennyondo bazinze ekigo kya Kabulamuliro Catholic Parish, ne bamenya...