TOP
  • Home
  • News
  • Bazudde ekika kya lumonde ow'ettunzi

Bazudde ekika kya lumonde ow'ettunzi

Added 8th April 2021

Polof. Samuel Kyamanywa ne Paul Mwambu nga bakebera ku lumonde ono. Ekifaananyi kya Agnes Nantambi.

Polof. Samuel Kyamanywa ne Paul Mwambu nga bakebera ku lumonde ono. Ekifaananyi kya Agnes Nantambi.

Aba Makerere University bakoze akuuma akakebera akawuka akalya lumonde ne bazuula ne kika kya lumonde ali ku ttunzi  ng'asobola okagumira embeera .

Noolwekyo abalimi ba lumonde bakubiriziddwa okusimba amalagala agayonjeddwa okusobola okufuna amakungula amalungi nga basobola n'okutundako ebweru okwongera ku nnyingiza ya buli maka.

Okusinziira ku Polof.  Samuel Kyamanywa akulira okunoonyereza ku  pulojekiti eno  eteekeddwa mu nkola ey'ekikugu ICT nga bali wamu ne  East Africa ICOPSEA), bagenda mu nnimiro ne beekebejja era ne bazuula ekika kya kawuka akalya lumonde  nga beeyambisa enkola ya tekinologiya eno. 

"Twetaaga okulaba nti lumonde atwalibwa ebweru era ng'alina akatale. Omwaka oguwedde    2000 metric tons  ze zafulumizibwa mu mawanga g'ebweru,"Kyamanywa bwe yategeezezza.

Enkolagana eno ne yunivasite za East Africa yatandikibwawo  oluvannyuma lw'okuzuula nti tewali atunda malagala ga lumonde malungi eri abalimi ekivaako amakungula ababi .

 "Okunoonyereza kwaffe kulaga nti bw'osimba ensigo enkyafu ofiirwa emirundi 80 ku 100  mu makungula'', Kyamanywa bwe yategeezezza.

Omulamwa gwa pulojekiti eno kwe kulaba nti abalimi basimba ensigo eziyonjeddwa basobole okwongera ku nfuna ya buli maka.

 Bino byatuukiddwaako nga batongoza VIAZI VITAMU gwe bateeka ku lumonde okulaba, ali ku mutindo okuzuula omulwadde era ne minisitule y'ebyobulimi yakiyingiramu olw'okusitula omutindo gwa lumonde. 

Polof. Ssetumba Mukasa dayirekita SINAI Farm Ltd etunda ensigo eziwerako eri abalimi nga zimaze okwekebejjebwa, yategeezezza nti ebibiina bya balimi byatandika okulaba enjawulo wakati wa lumonde omuyonjo n'atali kubanga buli yiika osobola okugiggyamu ttaani 10.             

 Kaminsona alondoola eby'ensigo era agaba olukusa okuva mu minisitule y'ebyobulimi n'obulunzi n'obuvubi  Mwabu yategeezezza nti pulojekiti eno eteereddwaamu amagezi g'Ekiddugavu okulaba nti bongera ku makungula ga lumonde  era nga kino kyakwongera enyingiza ya buli maka .

  • TAGS:

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lubega akulembedde ne Amatos ku kkooti e Makindye.

Abaali bafera paasita basin...

ABASUUBUZI b'omu Kampala basindikiddwa mu kkomera lwa kugezaako kufera Paasita ssente ezikunukkiriza mu buwumbi...

Spice Diana asiibuludde aba...

Bya Mukasa Lawrence  ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku...

Abakozi ba Rock bavudde mu ...

Bya Phoebe Nabagereka Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga...

FDC evumiridde effujjo erik...

Bya Doreen Namaggala AMYUKA ssabawandiisi w'ekibiina ki FDC, Arnold Kaija asabye bannayuganda okukomya okutiisatiisa...

Abazigu balumbye ekigo ne b...

Abazigu ababadde n'ebijambiya, emitayimbwa saako ennyondo bazinze ekigo kya Kabulamuliro Catholic Parish, ne bamenya...