TOP
  • Home
  • News
  • Omuyimbi Akon alambudde ffaamu ya Museveni e Kisozi

Omuyimbi Akon alambudde ffaamu ya Museveni e Kisozi

Added 8th April 2021

Pulezidenti Museveni ng'alambuza Akon ne mukazi we ente ze.

Pulezidenti Museveni ng'alambuza Akon ne mukazi we ente ze.

Omuyimbi Akon ne mukyala we Rozina bakyanyumirwa bulamu mu ggwanga lyaffe liyite ‘Ekkula lya Africa''.

Oluvannyuma lw'okukyalako mu bifo by'obulambuzi eby'enjawulo okuli Queen Elizabeth National Park, eggulo baakyaddeko ku ffaamu ya Pulezidenti Yoweri Museveni e Kisozi mu disitulikiti y'e Gomba.

Pulezidenti Ng'alambuza Akon Ne Mukazi We Ffaamu Ye E Kisozi.

Omuyimbi Akon Ne Mukyala We Ku Ffaamu Ya Pulezidenti E Kisozi.

Amawulire agavaayo galaga nti abantu bano baanyumiddwa nnyo embeera y'ekitundu n'okulaba ente ennansi nga zinnyirira era ezirabirirwa obulungi.

Oluvannyuma Museveni yataddeko obubaka ku mutimbagano n'agamba nti: Nkyazizza omuyimbi Aliaune Badara Akon ne mukyala we, Rozina Negusi ku ffaamu yange e Kisozi mu disitulikiti y'e Gombak ku Lwokusatu'.

Akon ali mu ggwanga ku nsonga z'ebyobusuubuzi era okuva lwe yajja azze asisinkana abakungu ba Gavumenti ab'enjawulo. Yategeezezza nti ayagala kuzimba ekibuga eky'omulembe mu Uganda era Gavumenti ne yeeyama okumuwa ettaka.

  • TAGS:

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lubega akulembedde ne Amatos ku kkooti e Makindye.

Abaali bafera paasita basin...

ABASUUBUZI b'omu Kampala basindikiddwa mu kkomera lwa kugezaako kufera Paasita ssente ezikunukkiriza mu buwumbi...

Spice Diana asiibuludde aba...

Bya Mukasa Lawrence  ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku...

Abakozi ba Rock bavudde mu ...

Bya Phoebe Nabagereka Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga...

FDC evumiridde effujjo erik...

Bya Doreen Namaggala AMYUKA ssabawandiisi w'ekibiina ki FDC, Arnold Kaija asabye bannayuganda okukomya okutiisatiisa...

Abazigu balumbye ekigo ne b...

Abazigu ababadde n'ebijambiya, emitayimbwa saako ennyondo bazinze ekigo kya Kabulamuliro Catholic Parish, ne bamenya...