TOP
  • Home
  • News
  • Asaba buyambi bamulongoose okugulu

Asaba buyambi bamulongoose okugulu

Added 8th April 2021

Safinah Kwikiriza ng'alaga okugulu okumuluma.

Safinah Kwikiriza ng'alaga okugulu okumuluma.

OMUWALA ow'emyaka 19 eyalwala ekizimba ku kugulu okwakkono ne bakwokya nga  kutanye  ate ne kuvunda alaajanira abazirakisa okumuyamba afune ssente obukadde 8 basobole okumulongoosa addemu okutambula obulungi .

Safinah Kwikiriza 19, omutuuze w'e Mutundwe e Lubaga mu Kampala yali mu bulumi buno ng' agamba nti ekizimba kino yakifuna mu 2017 bwe yali  akyabeera e Kyempene mu disitulikiti y'e Ntungamo ne bakyokya nga beeyambisa eddagala ly'ekinnansi.

Agamba nti oluvannyuma okugulu kuno kwatandika okumuluma kyokka ate n'ebazadde baabwe ne bababulako nga kyaddirira  okwewola ssente  okuva mu bbanka ne zibalema okusasula ne babowa ebintu byabwe omwali amaka n'ekibanja  bye baali baasingayo.

Kwikiriza ategeezezza nti waliwo omukyala  eyali abeera ku kyalo kyabwe ayitibwa Moreen Ainebyona eyamuggya mu kyalo n'amutwala mu makaage agasangibwa e Magere gye yali akola bwayaaya nga mwe yali aggya ssente ezaali ziyamba ne baganda be bastu beyaleka mu kyalo.

Kyokka omwaka oguwedde baayawukana kubanga yali tamusasula bulungi era ng'amuyisa bubi kyokka nga yali yamukweka nti alina obuvune mu kugulu.

Yasalawo okugenda e Mutundwe gye yafuna  wasula  ng'eno  bw'akola mu wooteeri emu gye bamusasulanga 2,000/- buli  lunaku kyokka okugulu kweyongedde okumuluma nga kuvaamu amasira nga kino  kyawaliriza eyali amukozesa okumutwala mu ddwaaliro  e Mulago ne bamukebera.

Eno baamutegeeza nti yeetaaga kulongoosebwa kubanga akawuka kagenda kakulya kwonna nga kye kivaako okuvaamu amasira era bamwetaagisa obukadde 8 zatalina mu kiseera kino .

Asaba omuntu yenna asobola okumudduukirira amufunire ku 0755622353.

  • TAGS:

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lubega akulembedde ne Amatos ku kkooti e Makindye.

Abaali bafera paasita basin...

ABASUUBUZI b'omu Kampala basindikiddwa mu kkomera lwa kugezaako kufera Paasita ssente ezikunukkiriza mu buwumbi...

Spice Diana asiibuludde aba...

Bya Mukasa Lawrence  ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku...

Abakozi ba Rock bavudde mu ...

Bya Phoebe Nabagereka Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga...

FDC evumiridde effujjo erik...

Bya Doreen Namaggala AMYUKA ssabawandiisi w'ekibiina ki FDC, Arnold Kaija asabye bannayuganda okukomya okutiisatiisa...

Abazigu balumbye ekigo ne b...

Abazigu ababadde n'ebijambiya, emitayimbwa saako ennyondo bazinze ekigo kya Kabulamuliro Catholic Parish, ne bamenya...