TOP
  • Home
  • News
  • MV Kalangala eri mu kugezesebwa

MV Kalangala eri mu kugezesebwa

Added 8th April 2021

Emmeeri ya MV Kalangala.

Emmeeri ya MV Kalangala.

EMMEERI ya MV Kalangala yazzeemu okukola wabula ng'eri mu kugezesebwa  oluvannyuma lw'okugisiba  yingini zaayo.

Emmeeri eno erina yingini bbiri wamu ne jjerereeta bbiri wabula nga byonna  biriko obukwakkulizo mu nkola yaabyo .

Buli mmeeri eno lw'eweza  essaawa 10,000 ng'etambula ku mazzi, yingini zaayo ziba  zirina  okusumululwa  n'okuzekebejja .

Ebadde  tekola  okumala ekiseera  era  ng'abalambuzi   n'abantu abalala  abava  ku luuyi lw'e Ntebe okudda ku bizinga e Kalangala  babadde  beeyambisa maato ate abalala nga  bakozesa luuyi lw'e Masaka awali ebidyeri  ebibiri ebiddukanyizibwa kkampuni ya Kalangala  Infrastructure Services (KIS) ku lwa gavumenti nga bino bya bwereere.

Abamu Ku Basaabaze Abalinze Okulinnya Emmeeri Eno.

Willy Lugoloobi ssentebe wa disitulikiti y'e Kalangala  yagambye nti   baamaze okutuukirira  UNRA  okubassa  mu nteekateeka y'okufuna ekidyeri ekirala ekinene  okusobola  okukola ku bantu abangi abava  n'okudda ku bizinga. 

MV Kalangala  esimbula okuva e Nakawogo mu Ntebe ku ssaawa 8:00 ezolweggulo okudda  e Lutoboka- Kalangala  gy'etuuka ku  ssaawa nga 11:00 ez'akawungeezi era ng'eno gy'esula n'esimbula enkeera ku ssaawa  2:00 okudda  e Nakiwogo.

 

  • TAGS:

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

NEZIKOOKOLIMA

▶️ Abaana abakoze ebibuuzo ...

▶️  NEZIKOOKOLIMA: Abaana abakoze ebibuuzo ebyakamalirizo musigale nga mukyali baana awaka.  

Ssempijja ng'asomesa abalimi.

Okugattika ebirime kye kiku...

MINISITA w'obulimi obulunzi n'obuvubi, Vincent Ssempijja asinzidde mu disitulikiti y'e Bukomansimbi n'ategeeza...

Abakristaayo lwe basabira wabweru ku Ssande.

Obulabirizi bw'e Namirembe ...

OBULABIRIZI bw'e Namirembe buyingidde mu nkaayana z'ettaka ly'ekkanisa e Kyanja n'ebugumya Abakristaayo  okusigala...

Jonathan McKinstry (wakati) ng'abuulirira Khalid Aucho (ku kkono) ne Mike Azira (ku ddyo).

Micheal Azira naye annyuse ...

MICHEAL Azira agucangira mu kiraabu ya New Mexico United yeegasse ku bassita ba Cranes babiri abakannyuka omupiira...

Nyombi ng'alaga olubuto mw'afulumira.

Afulumira mu kapiira alaajanye

OMUVUBUKA ow'emyaka 32 alaajana oluvannyuma ly'okumulongoosa ekyenda n'atawona nga kati yeetaaga obukadde butaano...