TOP
  • Home
  • News
  • Abakulembeze mukubirize abantu okwetangira mukenenya -Dr. Atwine

Abakulembeze mukubirize abantu okwetangira mukenenya -Dr. Atwine

Added 8th April 2021

Dr. Diana Atwine omuwandiisi ow’enkalakkalira mu Minisitule.

Dr. Diana Atwine omuwandiisi ow’enkalakkalira mu Minisitule.

Dr. Diana Atwine omuwandiisi ow'enkalakkalira mu minisitule y'ebyobulamu akubirizza abakulembeze mu Buganda okubeera abasaale nga bakunga wamu n'okubiriza abantu okugenda okwekebeza mukenenya  abasangiddwaamu obulwadde okugenda batandike eddagala.

Atwine bino abyogeredde mu musomo ku Imperial Resort  Beach Hotel e Ntebe ogwategekeddwa ekitongole ky'obulamu mu Buganda nga kiyambibwako Minisitule y'ebyobulamu mu ggwanga.

Omusomo gwetabiddwaamu abakulira ebika mu Buganda, Bakattikiro b'ebika, abakulira ebyobulamu ku masaza ga Buganda wamu n'abakulira abavubuka mu Masazza ga Buganda.

Atwine asabye abakulembeze ddala wano mu Buganda okukozesa eddoboozi lyonna lye balina balikozese nga bakunga abantu ku mukenenya.

Agambye nti wadde Gavumenti egezezaako okugula ebikozesebwa naye wano mu Buganda mukenenya akyalemeddewo kwe kusalawo beeyambise ne ku bakulembeze mu Buganda kubanga abantu abasinga okukwatibwa mukenenya bali mu Buganda.

Dr. Diana Atwine Omuwandiisi Ow'enkalakkalira Mu Minisitule N'abamu Ku Beetabye Mu Musomo.

Ye Dr. Fiona Kalinda, ssentebe w'akakiiko k'ebyobulamu mu Masaza ga Bugada era nga ye yakuliddemu eteekateeka eno ategeezezza nti omusomo guno gwe gumu kw'ejjo egikulembeddemu okujaguza amazaalibwa ga Kabaka agagenda okubeerawo nga April 13 ,2021 agatambulidde ku mulamwa ogugamba nti "Abavubuka babeere basaale mu kulwanyisa mukenenya" .

Kalinda agambye nti bategese n'ekyoto ekigenda okubeera ku buli ggombolola era nga bagenda kukozesa ekyoto ekyo okwogera okubuulira abavubuka ku mukenenya, ekyoto kya Lwamukaaga luno nga  April 10, 2021.

 

 

 

  • TAGS:

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

NEZIKOOKOLIMA

▶️ Abaana abakoze ebibuuzo ...

▶️  NEZIKOOKOLIMA: Abaana abakoze ebibuuzo ebyakamalirizo musigale nga mukyali baana awaka.  

Ssempijja ng'asomesa abalimi.

Okugattika ebirime kye kiku...

MINISITA w'obulimi obulunzi n'obuvubi, Vincent Ssempijja asinzidde mu disitulikiti y'e Bukomansimbi n'ategeeza...

Abakristaayo lwe basabira wabweru ku Ssande.

Obulabirizi bw'e Namirembe ...

OBULABIRIZI bw'e Namirembe buyingidde mu nkaayana z'ettaka ly'ekkanisa e Kyanja n'ebugumya Abakristaayo  okusigala...

Jonathan McKinstry (wakati) ng'abuulirira Khalid Aucho (ku kkono) ne Mike Azira (ku ddyo).

Micheal Azira naye annyuse ...

MICHEAL Azira agucangira mu kiraabu ya New Mexico United yeegasse ku bassita ba Cranes babiri abakannyuka omupiira...

Nyombi ng'alaga olubuto mw'afulumira.

Afulumira mu kapiira alaajanye

OMUVUBUKA ow'emyaka 32 alaajana oluvannyuma ly'okumulongoosa ekyenda n'atawona nga kati yeetaaga obukadde butaano...