TOP
  • Home
  • News
  • Abeebijambiya balumbye ekyalo ne batemaatema abantu

Abeebijambiya balumbye ekyalo ne batemaatema abantu

Added 8th April 2021

Omulangira  Jjuuko ng'attotola abatemu bwe baalumbyemu.

Omulangira Jjuuko ng'attotola abatemu bwe baalumbyemu.

ABATEMU abatannategeerekeka balumbye ekyalo Nabaziza mu Kyengera Town Council mu Wakiso ne batemaatema abatuuze n'okubanyagako ebintu byabwe.

Obutemu buno bwabaddewo ku ssaawa 8:00 mu kiro ekyakeesezza ku Lwokuna. Amaka agaasobye mu musanvu gaakoleddwaako obutemu n'ebintu byabwe omwabadde ne ssente enkalu ne bibbibwa.

Nansubuga Omu Ku Baatemeddwa Ng'annyonnyora Ebyabaddewo

ABAATEMUDDWA BANNYONNYODDE

Phiona Nansubuga omu ku baatemeddwa ategeezezza nti baabadde mu nnyumba nga beebasse ku ssaawa 8:00 ez'ekiro ne bawulira enswagiro mu ddiiro lyabwe. Gye baakubye amaaso ng'ekibinja ky'abasajja abaabadde bawera 10 nga bagguse dda mu kisenge kyabwe nga bakutte ebiso nga bambadde n'obukookolo ne batandika okumukanda ssente.

Olw'abagambye nti talina ssente ne batandika okumutemaatema n'okunyaga ebintu. Baabalese bataawa ne badduka.  

Sarah Sonko ng'ono naye yayingiriddwa ategeezezza nti abasajja abaamuyingiridde baabadde bataano nga bonna bakutte amajambiya ne bamutiisatiisa okumutemaatema ssinga akuba enduulu. Ekyaddiridde kutwala bintu ebyasangiddwa mu nnyumba omwabadde ffiriigi, laputopu, ppaasi, ssente n'ebirala.

 Tomusange Ssebuggwawo kkansala w'ekitundu kino ategeezezza nti bbo ng'abakulembeze bali mu kutya olw'ettemu erisusse mu kitundu kyabwe n'asaba abeebyokwerinda okubayamba.

Ono Naye Yalozezza Ku Bukambwe Bw'abatemu.

Ssaalongo Wagaba Amuri ssentebe w'ekitundu ekyalumbiddwa ategegeezezza nti obumenyi bw'amateeka bweyongedde nnyo mu kitundu kino nga guno gubadde mulundi gwakusatu nga bakolebwako obulumbaganyi.

Amuri asabye abatuuze mu kitundu kino okwongera okwekuuma ennyo  bwatyo n'asaba gavumenti okuvaayo okubayamba ku kizibu kino olw'ensonga nti kati basobeddwa eka ne mu kibira.

  • TAGS:

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Poliisi ng'ezze okutaasa abapakasi ku batuuze.

Ab'ebibanja balumbye ababas...

Ng'ensonga z'ettaka zongera okusattiza Bannamityana n'ebitundu ebiriraanyewo, waliwo abatuuze abavudde mu mbeera...

Amanda

Emigaso gy'amanda

Emigaso gy'amanda Ng'oggyeeko okugafumbisa, amanda gazuuliddwaamu emigaso. Gazigula olususu n'okugoba enkanyanya....

NEZIKOOKOLIMA

▶️ Abaana abakoze ebibuuzo ...

▶️  NEZIKOOKOLIMA: Abaana abakoze ebibuuzo ebyakamalirizo musigale nga mukyali baana awaka.  

Ssempijja ng'asomesa abalimi.

Okugattika ebirime kye kiku...

MINISITA w'obulimi obulunzi n'obuvubi, Vincent Ssempijja asinzidde mu disitulikiti y'e Bukomansimbi n'ategeeza...

Abakristaayo lwe basabira wabweru ku Ssande.

Obulabirizi bw'e Namirembe ...

OBULABIRIZI bw'e Namirembe buyingidde mu nkaayana z'ettaka ly'ekkanisa e Kyanja n'ebugumya Abakristaayo  okusigala...