
Ababaka abalonde nga basimbye ennyiriri okuyingira bbaasi.
Ababaka ba NRM abapya aba palamenti ey'omulundi 11 abasoba mu 200 basimbudde akawungeezi ka leero okwolekera olusirika e Kyankwanzi gye bagenda okumala wiiki ssatu nga bafuna okubangulwa okw'enjawulo ku nzirukanya y'emirimu mu palamenti.
Bano basimbudde okuva ku kisaawe e Kololo era nga balaze essanyu wamu n'okwesunga ebyo ebigenda okubasomesebwa nga bagamba nti byakubayamba kinene mu nkola y'emirimu gyabwe mu kuweereza eggwanga .
Omumyuka wa Ssaabawandiisi w'ekibiina kya NRM, Richard Todwong agambye nti bonna bamaze kubakebeza kirwadde kya Covid 19 era nga kyenkana bonna ebivudde mu musaayi biraze nti balamu bulungi.