TOP
  • Home
  • News
  • Gavt. etaddewo obuwumbi 17 okwongera okutumbula obuyiiya

Gavt. etaddewo obuwumbi 17 okwongera okutumbula obuyiiya

Added 8th April 2021

Minisita Elioda Tumwesigye ng'annyonnyola.

Minisita Elioda Tumwesigye ng'annyonnyola.

Gavt. etaddewo ssente obuwumbi 17 okwongera okutumbula obuyiiya.

Ssente zino zigenda kugabirwa Bannayuganda naddala abavubuka abanaabeera balaze mu buwandiike obuyiiya obw'enjawulo bwe balina gamba ng' okwongera obukugu mu byobulimi n'obulunzi, okukola ebyokwewunda omuli ebyo ebiva mu ffeeza ne zzaabu, abalimi okulaba nga tebakozesa maanyi mangi nga balima n'emmere okubeera ey'omutindo nga teretera bantu ndwadde.

Ssente zino zaakujja mu mitendera era nga baakutandika n'obuwumbi musanvu mu mwaka gw'ebyensimbi ogujja n'obulala 10 mu guliddako.

Bw'abadde ayanjula enteekateeka eno, minisita wa Ssaayansi ne tekinologiya Elioda Tumwesigye asabye abalina obukugu mu kukola ebintu beewandiise obutasukka April 12 ku ‘mail' zebajja okuteeka mu mpapula z'amawulire.

Ono agasseeko nti kino kikolebwa okulaba nga mu  2040 Munnayuganda yenna ayingiza ensimbi ezitakka wansi wa doola 9040 kw'ossa n'okulaba nga Uganda yeegulira erinnya mu kutunda ebyamaguzi mu mawanga amalala.

  • TAGS:

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

NEZIKOOKOLIMA

▶️ Abaana abakoze ebibuuzo ...

▶️  NEZIKOOKOLIMA: Abaana abakoze ebibuuzo ebyakamalirizo musigale nga mukyali baana awaka.  

Ssempijja ng'asomesa abalimi.

Okugattika ebirime kye kiku...

MINISITA w'obulimi obulunzi n'obuvubi, Vincent Ssempijja asinzidde mu disitulikiti y'e Bukomansimbi n'ategeeza...

Abakristaayo lwe basabira wabweru ku Ssande.

Obulabirizi bw'e Namirembe ...

OBULABIRIZI bw'e Namirembe buyingidde mu nkaayana z'ettaka ly'ekkanisa e Kyanja n'ebugumya Abakristaayo  okusigala...

Jonathan McKinstry (wakati) ng'abuulirira Khalid Aucho (ku kkono) ne Mike Azira (ku ddyo).

Micheal Azira naye annyuse ...

MICHEAL Azira agucangira mu kiraabu ya New Mexico United yeegasse ku bassita ba Cranes babiri abakannyuka omupiira...

Nyombi ng'alaga olubuto mw'afulumira.

Afulumira mu kapiira alaajanye

OMUVUBUKA ow'emyaka 32 alaajana oluvannyuma ly'okumulongoosa ekyenda n'atawona nga kati yeetaaga obukadde butaano...