TOP
  • Home
  • News
  • Minisitule  y'ebyobulamu eyongedde ku muwendo gw'abantu abalina okugemebwa

Minisitule  y'ebyobulamu eyongedde ku muwendo gw'abantu abalina okugemebwa

Added 8th April 2021

Minisita w'ebyobulamu Jane Acheng (ku ddyo) n'omukungu w'ekibiina ky'ebyobulamu Dr.Dr Yonas Tegegn (wakati).

Minisita w'ebyobulamu Jane Acheng (ku ddyo) n'omukungu w'ekibiina ky'ebyobulamu Dr.Dr Yonas Tegegn (wakati).

Minisitule  y'ebyobulamu eyongedde ku muwendo gw'abantu abalina okusooka okugemebwa ekirwadde kya covid 19 nga ku bano kuliko abantu abalina emyaka 18 okutuuka ku 50 nga balina eddwadde ez'amaanyi nabo abali waggulu w'emyaka 50.

Nga March 10, Minisitule y'ebyobulamu yatandika okugema abantu ekirwadde kya Covid 19 n'eddagala lya AstraZeneca nga baatandikira ku basawo, abasomesa, abasirikale ba poliisi n'abantu abalina emyaka 70 n'okudda waggulu nga kati baakagema abantu 144,025 okwetooloola eggwanga lyonna.

Minisita w'ebyobulamu Dr. Jane Ruth Acheng bw'abadde ayogerako eri abamawulire ku kitebe kyabwe e Wandegeya, agambye nti okutandika n'olwaleero abantu abalina emyaka 50 n'okudda waggulu ba ddembe okugenda okubagema nabo bokka abali wakati w'emyaka 18 okutuuka ku 50 nga balina eddwadde nga; ssukaali, puleesa, n'eddwadde z'ekibumba  balina okugenda okubagema.

Acheng era agumiza eggwanga nti tebannafunayo muntu yenna yafudde oluvannyuma lw'okumugema okuggyako okufuna obuzibu obutonotono nga okulumwa omutwe n'omusujja era najjukiza abantu bonna ssaako n'abasawo okugenda okubagema.

  • TAGS:

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

NEZIKOOKOLIMA

▶️ Abaana abakoze ebibuuzo ...

▶️  NEZIKOOKOLIMA: Abaana abakoze ebibuuzo ebyakamalirizo musigale nga mukyali baana awaka.  

Ssempijja ng'asomesa abalimi.

Okugattika ebirime kye kiku...

MINISITA w'obulimi obulunzi n'obuvubi, Vincent Ssempijja asinzidde mu disitulikiti y'e Bukomansimbi n'ategeeza...

Abakristaayo lwe basabira wabweru ku Ssande.

Obulabirizi bw'e Namirembe ...

OBULABIRIZI bw'e Namirembe buyingidde mu nkaayana z'ettaka ly'ekkanisa e Kyanja n'ebugumya Abakristaayo  okusigala...

Jonathan McKinstry (wakati) ng'abuulirira Khalid Aucho (ku kkono) ne Mike Azira (ku ddyo).

Micheal Azira naye annyuse ...

MICHEAL Azira agucangira mu kiraabu ya New Mexico United yeegasse ku bassita ba Cranes babiri abakannyuka omupiira...

Nyombi ng'alaga olubuto mw'afulumira.

Afulumira mu kapiira alaajanye

OMUVUBUKA ow'emyaka 32 alaajana oluvannyuma ly'okumulongoosa ekyenda n'atawona nga kati yeetaaga obukadde butaano...