TOP
  • Home
  • News
  • Omusomesa eyaziba amaaso kimusseeko abazirakisa bwe bamudduukiridde

Omusomesa eyaziba amaaso kimusseeko abazirakisa bwe bamudduukiridde

Added 11th April 2021

Fr. Dominic Kagoye  ng'akwasa Kironde (afukamidde wansi ) pikipiki gye baamutonedde,nnyina (mu gomesi) n'abaana be.

Fr. Dominic Kagoye ng'akwasa Kironde (afukamidde wansi ) pikipiki gye baamutonedde,nnyina (mu gomesi) n'abaana be.

Eyali Omusomesa wa Siniya okubala ne 'Physic's eyaziba amaaso mu ngeri eyewuunyisa ng'ali mu kibiina asomesa n'akubwa ne situlooko n'ataddamu kutambula okugyako okwavula ng'ono yalabikirako ku Bukedde TV ng'alaajanira abazirakisa okumuyamba abugaanye essanyu abalabi n'abasomi ba Bukedde bwe bamudduukiridde.

Benjamin Kironde 50 nga mu kiseera kino abeera ku kyalo Mabaale- muluka gwe Kyanika mu ggombolola y'e Kabira e Kyotera ng'eno yadda kumpi ne waazaalwa oluvannyuma lw'embeera okugaana bwe yali mu kibuga Masaka gye yali akolera ogw'obusomesa.

Pikipiki Gye Bawadde Kironde.

Kironde Ne Nnyina Nga Beebaza Obuyambi. Emabega Be Baana Ba Kironde.

Olunaku lumu Kironde yali asomesa abaana n'akwatibwa ekifu ku maaso omulundi gumu be ddu era teyaddamu kulaba ne mukyala we n'amuddukako!.

Ono abalabi ba Bukedde okuli ne banne be yasomanga nabo ku ssomero lya Sacred Heart Kiteredde SS e Kyotera abaamulaba ku Ttivvi n'abalala bamudduukiridde ne bamuzimbira ennyumba n'okumugulira pikipiki empya ekole bodaboda nga bw'afunamu kyalya. Bano era beeyamye okutwala abaana be bonna abana okubaweerera okutuuka lwe banaamala okusoma. 

  • TAGS:

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sheikh Mulindwa ng'asaaza Idd e Luweero.

'Gavumenti eyalayidde erwan...

Sheikh Mulindwa ku muzigiti gw'e Kasana Luweero. Ba Samuel Kanyike           DISITULIKITI Khadi wa Luweero,...

Lubega akulembedde ne Amatos ku kkooti e Makindye.

Abaali bafera paasita basin...

ABASUUBUZI b'omu Kampala basindikiddwa mu kkomera lwa kugezaako kufera Paasita ssente ezikunukkiriza mu buwumbi...

Spice Diana asiibuludde aba...

Bya Mukasa Lawrence  ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku...

Abakozi ba Rock bavudde mu ...

Bya Phoebe Nabagereka Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga...

FDC evumiridde effujjo erik...

Bya Doreen Namaggala AMYUKA ssabawandiisi w'ekibiina ki FDC, Arnold Kaija asabye bannayuganda okukomya okutiisatiisa...