TOP
  • Home
  • News
  • Abayizi ba S.6 babuuliriddwa okufaayo nga bakola ebigezo ebitandika enkya

Abayizi ba S.6 babuuliriddwa okufaayo nga bakola ebigezo ebitandika enkya

Added 11th April 2021

Abamu ku bayizi be basabidde.

Abamu ku bayizi be basabidde.

ABAYIZI ba S6 babuuliriddwa okutwala ebigezo eby'akamalirizo bye batandika enkya ng'ensonga kuba kati batandise okulengera ku biruubirirwa byabwe bye babadde nabyo okuva obuto.

Eky'okubituula mu kiseera kino ekitali kya bulijjo olw'okutataaganyizibwa kwa COVID 19 nakyo bagumiziddwa nti bwatyo Katonda bwe yabateekerateekera babikole mu kiseera ky'Amazuukira ga Yesu Kristo bagabanire wamu naye obuwanguzi.

Entanda eno ebasibiriddwa Fr. Matthias Kizito ow'omu kigo ky'e Lweza ne Can. Fred Matovu omuwanika w'Obulabirizi bwa West Buganda.

Dayirekita W'essomero Lino, Steven Kyameze Ne Heedimansita Joseph Nsubuga Nga  Bakwasa Abayizi Ebbaluwa Ezibasiima.

Can.fred Matovu Ng'asabira Abayizi.

Fr. Matthias Kizito Ng'asabira Abayizi.

Basinzidde mu kusabira abayizi ba S6 aba St Stephens College Bbajja Lukaya mu Kalungu.

Bamansiddwaako amazzi ag'omukisa n'okubawonga mu mikono gya Katonda gwe basabiddwa okumwekwasa abasobozese okwanukula ebituufu.

Abayizi bajjukiziddwa nti okumalako S6 tekibameza malala kuba y'entandika y'okuggusa ebirooto byonna ne balyoka babalirwa mu baakuguka mu bukugu obw'enjawulo .

Balabuddwa obutatwalirizibwa masanyu ga nsi okwonoonekerayo kibasobozese okusigalamu ensa n'okuweesa ababakwatiddeko essanyu nga batuuse ku buwanguzi.

Dayirekita w'essomero lino Steven Kyameze ne Heedimansita Joseph Nsubuga bakwasizza abayizi ebbaluwa ezibasiima olw'okukulembera bannaabwe mu bitongole ebyenjawulo.

Dayirekita Kyameze agambye nti wadde COVID 19 abatataaganyizza naye mu mativu nti ekiweereddwa abayizi kijja kubasobozesa okuyita obulungi.

N'abayizi aboogedde ku lwa bannaabwe balaze obugumu nti ebya COVID 19 tebijja kubalemesa kuyita bigezo kuba bateekeddwateekeddwa bulungi.

  • TAGS:

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sheikh Mulindwa ng'asaaza Idd e Luweero.

'Gavumenti eyalayidde erwan...

Sheikh Mulindwa ku muzigiti gw'e Kasana Luweero. Ba Samuel Kanyike           DISITULIKITI Khadi wa Luweero,...

Lubega akulembedde ne Amatos ku kkooti e Makindye.

Abaali bafera paasita basin...

ABASUUBUZI b'omu Kampala basindikiddwa mu kkomera lwa kugezaako kufera Paasita ssente ezikunukkiriza mu buwumbi...

Spice Diana asiibuludde aba...

Bya Mukasa Lawrence  ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku...

Abakozi ba Rock bavudde mu ...

Bya Phoebe Nabagereka Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga...

FDC evumiridde effujjo erik...

Bya Doreen Namaggala AMYUKA ssabawandiisi w'ekibiina ki FDC, Arnold Kaija asabye bannayuganda okukomya okutiisatiisa...