TOP
  • Home
  • News
  • Gavumenti eyungudde bambega ku babba ez'emyooga

Gavumenti eyungudde bambega ku babba ez'emyooga

Added 12th April 2021

Hudu ng'ayogera ku by'Emyooga ku Media Centre.

Hudu ng'ayogera ku by'Emyooga ku Media Centre.

RCC wa Kampala, Hudu Hussein asekeredde abeesomye okubba n'okubulankanya ssente ez'emyooga nti bubakeeredde. Gavumenti etaddewo bambega okubanoonyerezaako.

Bino Hudu yabyogeredde mu lukungaana lwa Bannamawulire olwatudde ku Media Centre mu Kampala ku Mmande nga April, 12 2021.

RCC Hudu yategeezezza nti baakitegeddeko nti waliwo abakyamu abeesomye okulemesa n'okubba ssente Pulezidenti Museveni ze yayisa mu Pulogulaamu y'Emyooga okuggya abantu mu bwavu. 

Yagambye nti Gavumenti ng'eyita mu Poliisi yayungudde dda abawanvu n'abampi okunooonyereza ku abo bonna abalabika okubaako emivuyo n'okuziba emiwaatwa ababbi mwe bayinza okuyita. 

Yayongeddeko nti n'abamu babamanyi era kati bali  mu kubalinnya kagere.

Yataddewo ennamba ez'okukubako okuloopa abadibaga pulogulaamu y'emyooga: 0753999916 ne 0785565746.

Ssente ezaateekebwa mu Myooga mu Disitulikiti y'e Kampala ne Wakiso ziri mu buwumbi 40 n'omusobyo nga buli SACCO mu pulogulaamu eno erina okufuna ssente ezitakka wansi wa  30,000,000/- n'akuutira abaafuna ezitawera okumutuukirira banoonyereze lwaki.

 

 

  • TAGS:

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sheikh Mulindwa ng'asaaza Idd e Luweero.

'Gavumenti eyalayidde erwan...

Sheikh Mulindwa ku muzigiti gw'e Kasana Luweero. Ba Samuel Kanyike           DISITULIKITI Khadi wa Luweero,...

Lubega akulembedde ne Amatos ku kkooti e Makindye.

Abaali bafera paasita basin...

ABASUUBUZI b'omu Kampala basindikiddwa mu kkomera lwa kugezaako kufera Paasita ssente ezikunukkiriza mu buwumbi...

Spice Diana asiibuludde aba...

Bya Mukasa Lawrence  ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku...

Abakozi ba Rock bavudde mu ...

Bya Phoebe Nabagereka Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga...

FDC evumiridde effujjo erik...

Bya Doreen Namaggala AMYUKA ssabawandiisi w'ekibiina ki FDC, Arnold Kaija asabye bannayuganda okukomya okutiisatiisa...