TOP
  • Home
  • News
  • Bba amutemye lwa kumumma mazzi ga kunaaba

Bba amutemye lwa kumumma mazzi ga kunaaba

Added 12th April 2021

Brenda Nairuba ng’apooca mu ddwaaliro ly’e Kamuli-Mulago.

Brenda Nairuba ng’apooca mu ddwaaliro ly’e Kamuli-Mulago.

Maama wa bbebi ow'emyezi ebiri apooca. Ali ku kitanda mu ddwaaliro ly'e Kamuli-Mulago ekkulu oluvannyuma lwa bba okumutema ng'amulanga obutamuwa mazzi ga kunaaba!

Kigambibwa nti Aggrey Kagoda yasabye Brenda Nairuba amazzi  g'okunaaba. Yabadde aliko emirimu  emirala gye yabadde akola n'alwamu okugamuwa, obusungu ne bumulinnya n'akwata ejjambiya n'amutema ku mutwe n'afuuwa omusaayi.

Yamulese ataawa n'adduka nga kati poliisi ekyamuyigga. Nairuba yalayizza enduulu ez'aleese baliraanwa abaamusanze  mu kitaba ky'omusaayi  ng'ataawa  ne bamuddusa mu ddwaaliro ly'e Kamuli-Mulago.

Brenda Nairuba Ng'apooca Mu Ddwaaliro Ly'e Kamuli Mulago.

Bino byabadde ku kyalo Buwanume mu  munisipaali y'e Kamuli mu distulikiti y'e Kamuli ku Lwomukaaga, Kagoda bwe yalemeddwa okukuuma obusungu n'asalawo ateme omukazi olw'amazzi ge yabadde asobola okwesenera.

Faizo Mwondha, ono nga  ye Kojja w'omulwadde, ategeezezza Bukedde  nti omulwadde tasobola kwogera kigambo okuggyako okuwuuna obuwuunyi.

Omwogezi wa Poliisi mu Busoga North, Michael Kasadha, avumiridde ekikolwa kino n'asaba abakulembeze bongere okuba obulindaala ku bikolwa by'obugulumbo bw'amaka.

Yanenyezza n'Abataka okulemwa okuzingiza omutemu n'atuuka okw'emulula, n'asaba abakulembeze basitukirengamu nga bawulidde ettemu nga lino , nti kw'ono Abataka, mu kifo eky'okuyoolayoola omulwadde  bamudduse mu ddwaaliro ate b'alinze Poliisi  atuuke ng'omusaayi gumuggwamu.  

  • TAGS:

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sheikh Mulindwa ng'asaaza Idd e Luweero.

'Gavumenti eyalayidde erwan...

Sheikh Mulindwa ku muzigiti gw'e Kasana Luweero. Ba Samuel Kanyike           DISITULIKITI Khadi wa Luweero,...

Lubega akulembedde ne Amatos ku kkooti e Makindye.

Abaali bafera paasita basin...

ABASUUBUZI b'omu Kampala basindikiddwa mu kkomera lwa kugezaako kufera Paasita ssente ezikunukkiriza mu buwumbi...

Spice Diana asiibuludde aba...

Bya Mukasa Lawrence  ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku...

Abakozi ba Rock bavudde mu ...

Bya Phoebe Nabagereka Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga...

FDC evumiridde effujjo erik...

Bya Doreen Namaggala AMYUKA ssabawandiisi w'ekibiina ki FDC, Arnold Kaija asabye bannayuganda okukomya okutiisatiisa...