TOP
  • Home
  • News
  • Poliisi eyingidde mu by'abaana abaanywedde obutwa ne bafa

Poliisi eyingidde mu by'abaana abaanywedde obutwa ne bafa

Added 12th April 2021

Abamu ku baana abaafudde.

Abamu ku baana abaafudde.

POLIISI mu disitulikiti y'e Rakai eyingidde mu kunoonyereza ku kituufu ekyaviiriddeko abaana aba famire emu, abataano okunywa eddagala erifuuyira omuddo ne bafa nga batuusiddwa mu ddwaaliro e Kitovu. 

Yadde bano baafiiridde mu ddwaaliro era lipoota nneeraga nti baafudde butwa obw'eddagala ery'ekika kya Parakwaati kyokka poliisi e Rakai yasoose kulemesa baaluganda okugenda mu maaso n'okuziika ng'egamba nti erina kusooka kussaawo okunoonyereza nayo ezuule ekituufu.

Omuduumizi wa poliisi y'e Rakai, Shifa Kiribwa yategeezezza nti mu kunoonyereza kuno tewali muntu n'omu y'akwatiddwa ku byekuusa ku kufa kw'abaana bano kyokka bakyagenda mu maaso n'okukola ogwabwe.

Entiisa eno yabadde ku kyalo Kiweeka mu ggombolola y'e Lwamaggwa e Kooki mu disitulikiti y'e Rakai nga bonna abaafudde baabadde bazzukulu ba Mzee Edward Ssemwezi. Bano baali bazze kulya Paasika ewa jjaja waabwe.

Abaana abaafudde kuliko:  Swabula Nansamba 1.5, Jovan Kukkiriza 5, Eriajah Jjingo 4, Shivan Mirembe 8 ne Alpha Kamoga 11. 

Baaziikiddwa ku biggya eby'enjawulo ng'abasatu baziikiddwa ewa Jjajaabwe  azaala kitaabwe Mzee James Mulengera ku kyalo e  Lwamaggwa ate ababiri baziikiddwa mu maka we bazaala Jjajaabwe  Mzee Edward Ssemwezi e Kirangira.

  • TAGS:

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sheikh Mulindwa ng'asaaza Idd e Luweero.

'Gavumenti eyalayidde erwan...

Sheikh Mulindwa ku muzigiti gw'e Kasana Luweero. Ba Samuel Kanyike           DISITULIKITI Khadi wa Luweero,...

Lubega akulembedde ne Amatos ku kkooti e Makindye.

Abaali bafera paasita basin...

ABASUUBUZI b'omu Kampala basindikiddwa mu kkomera lwa kugezaako kufera Paasita ssente ezikunukkiriza mu buwumbi...

Spice Diana asiibuludde aba...

Bya Mukasa Lawrence  ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku...

Abakozi ba Rock bavudde mu ...

Bya Phoebe Nabagereka Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga...

FDC evumiridde effujjo erik...

Bya Doreen Namaggala AMYUKA ssabawandiisi w'ekibiina ki FDC, Arnold Kaija asabye bannayuganda okukomya okutiisatiisa...