TOP
  • Home
  • News
  • Okuwulira omusango oguvaanwa omugagga eyamenya ekkanisa kukyajulidde

Okuwulira omusango oguvaanwa omugagga eyamenya ekkanisa kukyajulidde

Added 12th April 2021

Omugagga Dodoviko Mwanje ( ku kkono ) ng'ali ku kkooti e Kololo ne SSP Rashid Agero.

Omugagga Dodoviko Mwanje ( ku kkono ) ng'ali ku kkooti e Kololo ne SSP Rashid Agero.

WADDE nga gavumenti yamaliriza okunoonyereza ku musango oguvunaanibwa omugagga Dodovico Mwanje amanyiddwa nga Dodo ogw'okubba ebintu by'Ekkanisa ya St. Peters mu Ndeeba, okuguwulira kukyajulidde.

 Okuwulira omusango kwali kutandika March 31, 2021 oluvannyuma  lw'omuwaabi wa gavumenti Innocent Aleto okutegeeza kkooti nti baali baamaliriza okunoonyereza  kyokka tekisobose olw'omulamuzi Pamela Lamunu aguli mu mitambo obutasobola kubeerawo ng'afiiriddwa.

Dodo avunaanibwa emisango gy'okumenya Ekkanisa wabula gino gyakyusibwa oludda oluwaabi ne bamuggulako emirala egyatwalibwa mu kkooti ewozesa abalyake e Kololo ey'omulamuzi Pamela Lamunu.  

Okusinziira ku ludda oluwaabi, kigambibwa nti Dodo yabba  ebintu by'Ekkanisa ya St. Peter's bya bukadde 850 nga kigambibwa nti yabibba nga August 10, 2020 lwe baasenda ekkanisa. Omusango yagwegaana. 

Dodovico era avunaaniddwa okwekobaana n'abantu abalala okuli abaserikale ba poliisi SSP Rashid Agero, SP Martin Odero, ASP Karoli Isabirye, AIP Kiro Anthony, Ivan Katongole omukungu wa KCCA , Richard Naika nga naye mukungu wa KCCA ne GISO Ali Mukwaya ne bamenya ekizimbe ekiriwo mu mateeka.

Boofiisa ba poliisi era baavunaaniddwa okukozesa obubi ofiisi zaabwe  wamu n'okulya enguzi. Baakudda mu kkooti eno nga May 6,2021.

Era abantu abo bavunaaniddwa okujjeemera ebiragiro bya pulezidenti ne minisitule y'ebyobulamu ebikwata ku bulwadde bwe ssennyiga omukambwe nga kino baakikola nga August,9,2020  bwe baakung'aana ku kkanisa ya St.James e Ndeeba .

  • TAGS:

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sheikh Mulindwa ng'asaaza Idd e Luweero.

'Gavumenti eyalayidde erwan...

Sheikh Mulindwa ku muzigiti gw'e Kasana Luweero. Ba Samuel Kanyike           DISITULIKITI Khadi wa Luweero,...

Lubega akulembedde ne Amatos ku kkooti e Makindye.

Abaali bafera paasita basin...

ABASUUBUZI b'omu Kampala basindikiddwa mu kkomera lwa kugezaako kufera Paasita ssente ezikunukkiriza mu buwumbi...

Spice Diana asiibuludde aba...

Bya Mukasa Lawrence  ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku...

Abakozi ba Rock bavudde mu ...

Bya Phoebe Nabagereka Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga...

FDC evumiridde effujjo erik...

Bya Doreen Namaggala AMYUKA ssabawandiisi w'ekibiina ki FDC, Arnold Kaija asabye bannayuganda okukomya okutiisatiisa...