TOP
  • Home
  • News
  • Eby'emmotoka ya Bobi Wine bijulidde

Eby'emmotoka ya Bobi Wine bijulidde

Added 13th April 2021

Emmotoka ya Kyagulanyi empya.

Emmotoka ya Kyagulanyi empya.

EBY'EMMOTOKA ya Bobi Wine etayitamu byasi byongedde okuwanvuwa ab'ekitongole ekiwoza omusolo bwe bategeezezza nti, okugimuddiza alina kufuna lukusa okuva mu minisitule y'ensonga z'omunda.

Omwogezi w'ekitongole ekiwooza emisolo, Ian Rumanyika yagambye nti, bwe bamala okugyekebejja ne bakizuula nga teyitamu masasi, okugimuddiza olukusa alina kulufuna kuva mu miniisitule y'ensonga z'omunda mu ggwanga.

Yannyonnyodde nti, bw'eba teyitamu masasi kibeera kyakulwanyisa ekirina okuweebwako olukusa akakiiko akavunaanyizibwa ku byokwerinda mu ggwanga akolera mu minisitule y'ensonga z'omunda.

Yagambye nti, emmotoka bakyagirina ku ofiisi zaabwe e Nakawa era abakugu baabadde bakyagyekebejja okukakasiza ddala nga teyitamu masasi.

Okusooka, looya wa Bobi Wine, Anthony Wameli yagambye nti, baabadde babategeezezza nti, okubawa mmotoka eno, Land Cruiser UBJ 667F, balina kusooka kufuna lukusa kuva mu UPDF kyokka amyuka omwogezi wa UPDF, Lt. Col. Deo Akiiki Asiimwe yagambye nti, mmotoka ya Bobi Wine terina w'ebakwatirako.

Yagambye nti, mmotoka eno evunaanyizibwako kitongole kya URA n'agamba nti, UPDF tewooza musolo n'abajaasi be baasindika okukolera wansi wa URA, tebavunaanyizibwa ku bya musolo.

Omwogezi wa minisitule y'ensonga z'omunda, Jacob Siminyu yakakasizza ekya Bobi Wine okusooka okufuna olukusa okuva gyebali n'agamba nti, akulira ‘Government Security Office' y'alina obuvunaanyizibwa ku mmotoka ya Bobi Wine.

 

  • TAGS:

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sheikh Mulindwa ng'asaaza Idd e Luweero.

'Gavumenti eyalayidde erwan...

Sheikh Mulindwa ku muzigiti gw'e Kasana Luweero. Ba Samuel Kanyike           DISITULIKITI Khadi wa Luweero,...

Lubega akulembedde ne Amatos ku kkooti e Makindye.

Abaali bafera paasita basin...

ABASUUBUZI b'omu Kampala basindikiddwa mu kkomera lwa kugezaako kufera Paasita ssente ezikunukkiriza mu buwumbi...

Spice Diana asiibuludde aba...

Bya Mukasa Lawrence  ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku...

Abakozi ba Rock bavudde mu ...

Bya Phoebe Nabagereka Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga...

FDC evumiridde effujjo erik...

Bya Doreen Namaggala AMYUKA ssabawandiisi w'ekibiina ki FDC, Arnold Kaija asabye bannayuganda okukomya okutiisatiisa...