TOP
  • Home
  • News
  • Bakoze ekyuma ekifuyiira n'okutta obuwuka bwa Covid 19

Bakoze ekyuma ekifuyiira n'okutta obuwuka bwa Covid 19

Added 13th April 2021

Abakugu nga balaga ekyuma ekifuyiira n'okutta obuwuka bwa Covid 19.

Abakugu nga balaga ekyuma ekifuyiira n'okutta obuwuka bwa Covid 19.

Abakugu mu bya tekinologiya okuva mu ggwanga lya Romania nga bali wamu n'ab'ekitongole kya Good Care baliko ekyuma kye bakoze ekyeyambisibwa okufuuyira n'okutta obuwuka obuviirako obulwadde bwa Covid 19.

Ekyuma kino ekituumiddwa Cube -s- Atomizers bakyanjulide abakungu mu ministule y'ebyobulamu nga baagala gavumenti bw'eneeba amaze okukyekebejja ekkirize ebyuma ebirala bireetebwe ku katale okuyamba okulwanyisa Covid 19 naddala mu bifo omukung'aanira abantu abangi nga mu butale, amalwaliro, amasomero n'ebirala.

Lucky Moses Guma, ssentebe  w'ekitongole kya Goodcare Uganda foundation ategeezezza nti ekyuma kino kyakoleddwa nga kisobola okufuuyira obuwuka obubeera mu kifo ne mu bbanga.

Dr. Robert Mutumba ,omukugu okuva mu ministule y'ebyobulamu yategeezezza nti nga ministule bw'egenda okwongera okwekebejja n'okwekenneenya enkola y'ekyuma kino era bwe kinaazuulibwa nga kyamugaso bajja kusaba eggwanga okukyettanira.

 

  • TAGS:

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sheikh Mulindwa ng'asaaza Idd e Luweero.

'Gavumenti eyalayidde erwan...

Sheikh Mulindwa ku muzigiti gw'e Kasana Luweero. Ba Samuel Kanyike           DISITULIKITI Khadi wa Luweero,...

Lubega akulembedde ne Amatos ku kkooti e Makindye.

Abaali bafera paasita basin...

ABASUUBUZI b'omu Kampala basindikiddwa mu kkomera lwa kugezaako kufera Paasita ssente ezikunukkiriza mu buwumbi...

Spice Diana asiibuludde aba...

Bya Mukasa Lawrence  ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku...

Abakozi ba Rock bavudde mu ...

Bya Phoebe Nabagereka Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga...

FDC evumiridde effujjo erik...

Bya Doreen Namaggala AMYUKA ssabawandiisi w'ekibiina ki FDC, Arnold Kaija asabye bannayuganda okukomya okutiisatiisa...