TOP
  • Home
  • News
  • Nkyali mukulembeze w'akatale ka Owino mu mateeka- Kayongo

Nkyali mukulembeze w'akatale ka Owino mu mateeka- Kayongo

Added 13th April 2021

Kayongo ng'annyonnyola.

Kayongo ng'annyonnyola.

Abadde ssentebe w'akatale ka St.Balikuddembe, Godfrey Kayongo ategeezeza nti akyali mukulembeze w'abasuubuzi b'ekibiina kya SSLOA wadde nga  KCCA yataddewo obukulembeze bwayo.

Bino Kayongo yabyogeredde mu Owino ku Mmande bwe yabadde ayogerako ne bannamawulire ku nsonga z'abasuubuzi (abeesondamu ssente z'okwekulaakulanyiza ekifo kino) n'obukulembeze ezigenda mu maaso mu kiseera kino.

Kayongo era alabudde KCCA okulekeraawo okulimba Pulezidenti nti abasuubuzi beekolamu omulimu ne bakyusa obukulembeze bwabwe (obwa SSLOA)  ng'ate be bali emabega w'okubukyusa n'okukakatika ku basuubuzi  Suzan Kushaba (ssentebe w'akakiiko ak'ekiseera akaddukanya akatale kano) nga beeyambisa abaserikale baayo (aba enforcement) n'ebitongole byokwerinda okuli poliisi n'amagye okutuukiriza ebigendererwa byabwe. 

Kyokka n'agumya abasuubuzi nti waliwo omusango ogugenda mu maaso mu kkooti enkulu (mwe baawawaabiridde KCCA olw'okumenya ekiragiro kya kkooti eno n'ekyusa obukulembeze bwabwe n'okubataataaganya mu nzirukanya y'emirimu gwe basuubira okufuniramu obwenkanya. Era abasabye okubeera abakakkamu n'obutakozesa maanyi ku nsonga y'okutaasa akatale kaabwe okutuusa nga kkooti emaze okuwa ensala yaayo mu musango guno.

 

  • TAGS:

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sheikh Mulindwa ng'asaaza Idd e Luweero.

'Gavumenti eyalayidde erwan...

Sheikh Mulindwa ku muzigiti gw'e Kasana Luweero. Ba Samuel Kanyike           DISITULIKITI Khadi wa Luweero,...

Lubega akulembedde ne Amatos ku kkooti e Makindye.

Abaali bafera paasita basin...

ABASUUBUZI b'omu Kampala basindikiddwa mu kkomera lwa kugezaako kufera Paasita ssente ezikunukkiriza mu buwumbi...

Spice Diana asiibuludde aba...

Bya Mukasa Lawrence  ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku...

Abakozi ba Rock bavudde mu ...

Bya Phoebe Nabagereka Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga...

FDC evumiridde effujjo erik...

Bya Doreen Namaggala AMYUKA ssabawandiisi w'ekibiina ki FDC, Arnold Kaija asabye bannayuganda okukomya okutiisatiisa...