TOP
  • Home
  • News
  • Aba NUP si bamativu ku misolo emipya egireetebwa gavumenti

Aba NUP si bamativu ku misolo emipya egireetebwa gavumenti

Added 13th April 2021

Aba NUP nga bawaga e Kamwokya.

Aba NUP nga bawaga e Kamwokya.

ABAKULEMBEZE b'ekibiina kya National Unity Platform (NUP) bavuddeyo ku misolo emipya egiteekebwateekebwa gavumenti mu mwaka gw'eby'esimbi ogujja 2021-2022.

Omwogezi w'ekibiina kino, Joel Ssennyonyi mu lukung'aana lwa bannamawulire olwatudde ku kitebe ky'ekibiina e Kamwokya ku Lwokubiri, yagambye nti emisolo egisiddwa ku Bannayuganda gigendereddwamu kubanyunyuta.

Yagambye nti emisolo gino egireetebwa omuli ogwa data ogwa 12%, ogwa boodabooda 50,000/-,  ogw'emmotoka 200,000/- buli mwaka, amayumba agapangisibwa n'emirala tegirina kalungi eri Bannayuganda kuba n'emikadde egibaddewo babadde bagisasula kyokka ng'ensimbi zaabwe zibbibwa bubbibwa n'okugenda mu bintu ebitalina mugaso eri bannansi.

Ssennyonyi yalaze obwennyamivu olw'abamu ku bakungu ba gavumenti abagamba nti Uganda esobola okubeerawo nga terina yintanenti n'agamba nti ekyo bakyogeza butamanya era webali mu kiseera kino Uganda yayitawo dda kuba kati Bannayuganda bangi naddala abavubuka abakozesa yintanenti ng'ekkubo erireeta ssente era nga kwe basinziira okuddukanya bizinensi zaabwe nga n'omusolo ogwassiddwa ku yintanenti tegusaanidde.

Yagambye nti Bannayuganda omusolo baalibadde tebagulinaamu buzibu okugusasula naye gwe basasula tebalaba kye gukola kuba amalwaliro ga gavumenti mangi temuli ddagala n'abasawo basasulwa bubi, abayizi mu masomero ga gavumenti bakyasomera wansi w'emiti, enguudo mbi nnyo n'ebirala.

 

 

 

   




 

 

 

  • TAGS:

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sheikh Mulindwa ng'asaaza Idd e Luweero.

'Gavumenti eyalayidde erwan...

Sheikh Mulindwa ku muzigiti gw'e Kasana Luweero. Ba Samuel Kanyike           DISITULIKITI Khadi wa Luweero,...

Lubega akulembedde ne Amatos ku kkooti e Makindye.

Abaali bafera paasita basin...

ABASUUBUZI b'omu Kampala basindikiddwa mu kkomera lwa kugezaako kufera Paasita ssente ezikunukkiriza mu buwumbi...

Spice Diana asiibuludde aba...

Bya Mukasa Lawrence  ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku...

Abakozi ba Rock bavudde mu ...

Bya Phoebe Nabagereka Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga...

FDC evumiridde effujjo erik...

Bya Doreen Namaggala AMYUKA ssabawandiisi w'ekibiina ki FDC, Arnold Kaija asabye bannayuganda okukomya okutiisatiisa...