TOP
  • Home
  • News
  • Aba SPC bawaddeyo ebyambalo bya poliisi nga beemulugunya obutasasulwa

Aba SPC bawaddeyo ebyambalo bya poliisi nga beemulugunya obutasasulwa

Added 13th April 2021

Abaserikale nga bawaayo ebyambalo.

Abaserikale nga bawaayo ebyambalo.

ABASIRIKALE 200  abaateekebwawo okuyambako mu biseera by'okulonda
bazizzaayo ebyambalo bya poliisi abamu  nga bakukuluma olw'obutasasulwa
omwezi  gwa March.

Mu November w'omwaka oguwedde poliisi yatendeka abasirikale bano okuyambako okulwanyisa obujjagalaalo mu biseera by'okulonda. Bano baatandika okukola mu January w'omwaka guno nga buli omu abadde asasulwa mitwalo 375,200/-.

Abeewandiisizza ku poliisi y'e Kawempe baasabiddwa okuzzaayo ebyambalo wabula baalaze okutya nti babibaggyeko nga tebannasasulwa omwezi gwa March ne basaba abakulira poliisi okutunula mu nsonga yaabwe kuba baalekawo emirimu gyabwe ne basalawo okukolera poliisi.

  • TAGS:

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sheikh Mulindwa ng'asaaza Idd e Luweero.

'Gavumenti eyalayidde erwan...

Sheikh Mulindwa ku muzigiti gw'e Kasana Luweero. Ba Samuel Kanyike           DISITULIKITI Khadi wa Luweero,...

Lubega akulembedde ne Amatos ku kkooti e Makindye.

Abaali bafera paasita basin...

ABASUUBUZI b'omu Kampala basindikiddwa mu kkomera lwa kugezaako kufera Paasita ssente ezikunukkiriza mu buwumbi...

Spice Diana asiibuludde aba...

Bya Mukasa Lawrence  ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku...

Abakozi ba Rock bavudde mu ...

Bya Phoebe Nabagereka Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga...

FDC evumiridde effujjo erik...

Bya Doreen Namaggala AMYUKA ssabawandiisi w'ekibiina ki FDC, Arnold Kaija asabye bannayuganda okukomya okutiisatiisa...