TOP
  • Home
  • News
  • Omubaka wa Amerika mu Uganda aweerezza Abasiraamu obubaka bw'ekisiibo

Omubaka wa Amerika mu Uganda aweerezza Abasiraamu obubaka bw'ekisiibo

Added 14th April 2021

Natalie E. Brown

Natalie E. Brown

OMUBAKA wa  Amerika mu Uganda Natalie E. Brown ayagalizza  Abasiraamu ekisiibo  ekirungi n'agamba nti kino kibeera kiseera eky'okuzza obuggya okukkiriza, okwekubamu ttooci, okusaasira  n'okulumirirwa abalala.

Eky'okusaalirwa nti n'omwaka guno nagwo gutuuse ng'ekirwadde kya  Corona  kikyabonyaabonya  ensi yonna  era kikoseddwa obulamu.

Okufaananako n'Abasiraamu ba Uganda, mu Amerika nayo waliyo Abasiraamu obukadde  busatu  abatagenda kufuna  mukisa  kujaguza  mwezi guno mu ngeri eyabulijjo.

Tubasabira mwongere okwoleka obugumiikiriza n'okwetegeera     mwe ng'abantu n'abalala nga mweteeka mu kifaananyi ekituufu  ekireeteddwa   embeera ya Corona.

Kati  Amerika eri mu kaweefube w'okulwanyisa Corona w'okuyambako okutuusa eddagala erigema Corona mu mawanga 92 okwetooloola ensi yonna.

Bino Natalie abiyisizza mu bubaka bw'aweerezza Abasiramu mu Uganda nga batandika ekisiibo.

  • TAGS:

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sheikh Mulindwa ng'asaaza Idd e Luweero.

'Gavumenti eyalayidde erwan...

Sheikh Mulindwa ku muzigiti gw'e Kasana Luweero. Ba Samuel Kanyike           DISITULIKITI Khadi wa Luweero,...

Lubega akulembedde ne Amatos ku kkooti e Makindye.

Abaali bafera paasita basin...

ABASUUBUZI b'omu Kampala basindikiddwa mu kkomera lwa kugezaako kufera Paasita ssente ezikunukkiriza mu buwumbi...

Spice Diana asiibuludde aba...

Bya Mukasa Lawrence  ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku...

Abakozi ba Rock bavudde mu ...

Bya Phoebe Nabagereka Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga...

FDC evumiridde effujjo erik...

Bya Doreen Namaggala AMYUKA ssabawandiisi w'ekibiina ki FDC, Arnold Kaija asabye bannayuganda okukomya okutiisatiisa...