TOP
  • Home
  • News
  • Ssente z'okuzimba omwala gwa Nalukolongo zizzeeyo mu Bbanka y'ensi yonna

Ssente z'okuzimba omwala gwa Nalukolongo zizzeeyo mu Bbanka y'ensi yonna

Added 14th April 2021

Ddamba ng'ayogerera mu lukiiko lwa Bannalubaga.

Ddamba ng'ayogerera mu lukiiko lwa Bannalubaga.

Ssente z'okuzimba omwala gwa Nalukolongo Channel zatwaliddwa bbanka y'ensi yonna, olw'okumala ebbanga eddene nga tezikozesebwa.

Bino byogeddwa Ismail Ddamba Kisuze, kansala wa Lubaga III mu KCCA, abadde mu lukiiko mw'asisinkanidde abakulembeze ku mitendera egy'enjawulo mu Lubaga, lw'atuuzizza ku ssomero lya Vienna High School e Kabowa.

Basisinkanye mubaddemu ; abaayitamu okukiika ku KCCA n'abaayitamu okukiikirira abantu ku munisipaali e Lubaga n'abakulembeze b'ebitundu, abategeeze ebintu nga bwe bibadde bitambula mu kiseera ky'emyaka etaano gy'amaze ng'abaweereza. 

Ddamba agambye nti,  mu 2014, bbanka y'ensi yonna yawa Uganda ssente,  ddoola za America  obukadde 175 ku pulojekiti eno, okuzimba omwala gwa Nalukolongo Channel, okugugaziya n'okuguwanvuya gusobole okutwala amazzi agawera, gavumenti ya Uganda yeeyalina  okuliyirira abantu abaliko baveewo, omulimu gutandike,  ekyalema okutuusa  ssente bbanka y'ensi yonna bwezizizzaayo.

Oluguudo lwa Ssuuna ne Wamala zigenda kuzimbibwa okutandika n'omwezi gwa July omwaka guno.

Agambye nti, okusinziira ku mateeka g'alese gabagiddwa mu KCCA,  teri muntu ssekinoomu addamu kukkirizibwa kutandikawo katale, nti, bazzeeyo okutambulira ku tteeka lya 1942 erigamba nti, gavumenti yokka y'erina okutandikawo obutale, nti wabula abasuubuzi baakulondanga abakulembeze beebeesiimidde.

Ku kya kasasiro, buli muntu avunaanyizibwa ku kufuna wasuula kasasiro we, ate alina kusuulibwa mu kifo ekyatongozebwa okusuulibwamu kasasiro kyokka, bw'oba tosobola kutuukawo ng'okolagana ne kkampuni esobola okumutwalayo ne muteesa.

Yeebazizza Bannalubaga okumuwa omukisa okubaweereza emyaka etaano gy'amazeeyo, nti wadde teyafunye mukisa kuddayo naye ajja kusigala akolera wamu n'abantu b'e Lubaga.

  • TAGS:

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sheikh Mulindwa ng'asaaza Idd e Luweero.

'Gavumenti eyalayidde erwan...

Sheikh Mulindwa ku muzigiti gw'e Kasana Luweero. Ba Samuel Kanyike           DISITULIKITI Khadi wa Luweero,...

Lubega akulembedde ne Amatos ku kkooti e Makindye.

Abaali bafera paasita basin...

ABASUUBUZI b'omu Kampala basindikiddwa mu kkomera lwa kugezaako kufera Paasita ssente ezikunukkiriza mu buwumbi...

Spice Diana asiibuludde aba...

Bya Mukasa Lawrence  ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku...

Abakozi ba Rock bavudde mu ...

Bya Phoebe Nabagereka Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga...

FDC evumiridde effujjo erik...

Bya Doreen Namaggala AMYUKA ssabawandiisi w'ekibiina ki FDC, Arnold Kaija asabye bannayuganda okukomya okutiisatiisa...