TOP
  • Home
  • News
  • Atalina lukusa lwa kusima musenyu waakuliwa Kawumbi -Gavumenti

Atalina lukusa lwa kusima musenyu waakuliwa Kawumbi -Gavumenti

Added 14th April 2021

Minisita Sarah Opendi ng'ayogera.

Minisita Sarah Opendi ng'ayogera.

Gavumenti ng'eyita mu Minisitule y'ebyobugagga eby'omu ttaka ereese ebbago ly'etteeka erinaalung'amya bonna abasima ebyobugagga eby'omu ttaka nga kabinenti yalisembye dda, kati lirindiridde kutwalibwa mu Palamenti liyisibwe.

Ebbago lino lijja ng'ennongoosereza mu eryo eribaddewo erya 2003 nga Gavumenti egamba nti abo bonna abasima ebizimbisibwa ng'omusenyu, mmalamu, ebbumba n'ebirala nga bizinensi balina kusooka kufuna lukusa nga ssinga tebakola ekyo baakutanzibwa ssente akawumbi kalamba oba okusibwa emyaka 7 oba byombi.

Minisita Sarah A. Opendi bino yabyogeredde mu lukung'aana lwa bannamawulire ku Media Centre ku Lwokusatu mu Kampala. Yagambye nti abantu bangi ababadde basima ebintu ng'omusenyu ne bagutunda ne wabweru w'eggwanga nga tebalina layisinsi  ekibadde kifiiriza Gavumenti omusolo, n'agamba nti kino kya kukoma.

Mu byobugagga ebisimwa mu ttaka ebirala mulimu; Zzaabu, amafuta, ‘Copper',  n'ebirala nga byonna byakugoberera etteeka lino.

EBIKULU EBIRALA MU BBAGO LINO

1.  Abanaakwatibwa nga bakozesa eddagala ery'obulabe eri obutonde nga ‘mercury' baakuliwa obukadde bwa ssente 100 oba okusibwa emyaka egitasukka 3 oba byombi.

2.  Teri kukozesa mwana ali wansi w'emyaka 15.

3.  Okufaayo ku ddembe ly'abalombe n'obutakuumira bulamu bwabwe mu katyabaga.

Mu birala eby'okukyukamu, poliisi enkuumi ey'obyobugagga ebisimwa mu ttaka yaakutandika kuba wansi wa minisitule eno so si nga bwe gubadde.

ENGABANA EMPYA KU BYOBUGAGGA BINO NGA BIZUULIDDWA

Engabana ey'etteeka era 2003 ebadde nti: Gavumenti etwala 80 ku buli 100, Disitulikiti ng'etwalako ebitundu 17 ku buli 100 ate nnannyini ttaka awazuuliddwa ebyobugagga ebyo n'afunako ebitundu 3 ku buli 100.

  • TAGS:

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lubega akulembedde ne Amatos ku kkooti e Makindye.

Abaali bafera paasita basin...

ABASUUBUZI b'omu Kampala basindikiddwa mu kkomera lwa kugezaako kufera Paasita ssente ezikunukkiriza mu buwumbi...

Spice Diana asiibuludde aba...

Bya Mukasa Lawrence  ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku...

Abakozi ba Rock bavudde mu ...

Bya Phoebe Nabagereka Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga...

FDC evumiridde effujjo erik...

Bya Doreen Namaggala AMYUKA ssabawandiisi w'ekibiina ki FDC, Arnold Kaija asabye bannayuganda okukomya okutiisatiisa...

Abazigu balumbye ekigo ne b...

Abazigu ababadde n'ebijambiya, emitayimbwa saako ennyondo bazinze ekigo kya Kabulamuliro Catholic Parish, ne bamenya...