TOP
  • Home
  • News
  • Baleese yunifoomu z'abakozi ba kkooti okubalemesa okulya enguzi

Baleese yunifoomu z'abakozi ba kkooti okubalemesa okulya enguzi

Added 14th April 2021

Bakiraaka ba kkooti nga bambadde yunifoomu.

Bakiraaka ba kkooti nga bambadde yunifoomu.

Kaweefube w'okulwanyisa obuli bw'enguzi, essiga eddamuzi limukwasizza maanyi bwe litongoza  yunifoomu  egenda okwambalibwa abakozi ba kkooti buli lunaku baleme kubuzaabuza bantu.

Yunifoomu zino okuli akabonerezo k'essiga eddamuzi  ziteereddwaako amannya g'abakozi ba kkooti nga kino kijja kwanguyiza abantu okumanya amannya gaabo ababeera babasabye enguzi.

Zitongozeddwa omuwandiisi w'enkalakkalira ow'essiga eddamuzi,  Pius Bigirimana n'akulira abawandiisi ba kkooti, Sarah Langa ku mukolo ogubadde ku Kkooti Enkulu mu Kampala era n'abagamba nti buli ayambala yunifoomu alina okwambala ne densite y'omulimu.

Bigirimana agasseeko nti n'abalamuzi ba kkooti ento baakuweebwa amajoowolo agabawula ku bantu abaabulijjo, abantu basobole okwawula abalamuzi n'abeefuula abalamuzi.

Annyonnyodde nti kaweefube w'okulwanyisa enguzi bamukwasiza maanyi era  baakagoba abakozi basatu, 15 bakyali ku katembe ate 30 bakyanoonyerezebwako.

Essiga eddamuzi lizze linokolebwayo nga erikwata ekyokubiri mu kulya enguzi nga poliisi y'ekulembera yadde ng' aba poliisi bambala yunifoomu okuli amannya.

 

  • TAGS:

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sheikh Mulindwa ng'asaaza Idd e Luweero.

'Gavumenti eyalayidde erwan...

Sheikh Mulindwa ku muzigiti gw'e Kasana Luweero. Ba Samuel Kanyike           DISITULIKITI Khadi wa Luweero,...

Lubega akulembedde ne Amatos ku kkooti e Makindye.

Abaali bafera paasita basin...

ABASUUBUZI b'omu Kampala basindikiddwa mu kkomera lwa kugezaako kufera Paasita ssente ezikunukkiriza mu buwumbi...

Spice Diana asiibuludde aba...

Bya Mukasa Lawrence  ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku...

Abakozi ba Rock bavudde mu ...

Bya Phoebe Nabagereka Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga...

FDC evumiridde effujjo erik...

Bya Doreen Namaggala AMYUKA ssabawandiisi w'ekibiina ki FDC, Arnold Kaija asabye bannayuganda okukomya okutiisatiisa...