TOP
  • Home
  • News
  • Minisita Sam Kuteesa ayanjudde lipooti ku byaliwo mu November eri Aba UN

Minisita Sam Kuteesa ayanjudde lipooti ku byaliwo mu November eri Aba UN

Added 14th April 2021

Minisita Kuteesa

Minisita Kuteesa

MINISITA w'enkolagana y'amawanga g'ebweru, Sam Kahamba Kuteesa ayanjudde lipooti ku bwegugungo obwaliwo nga November 18 ne 19, 2020 omwafiira abantu abasoba mu 50.

Lipooti yajanjulidde abakiise b'amawanga ataano agatuula ku kakiiko k'eby'okwerinda mu kibiina ky'amawanga amagatte ekya United Nation mu Uganda ku Lwokubiri. Abakiise kwabaddeko owa Amerika, Bungereza, Bufalansa, China ne Russia ne kwegattibwako ow'omukago gwa Bulaaya.

Yabagambye nti, ekyaliwo ku nnaku ezo kinakuwaza era kibi nnyo olw'obulamu bw'abantu abangi abaalusulamu akaba.

Yagambye abakiise nti, "ebibadde byogerwa ku bitongole by'ebyokwerinda nti waliwo okuwamba abantu mu ggwanga si bituufu nti kyokka omuntu yenna anaasangibwa mu bumenyi bw'amateeka, ajja kukwatibwa anoonyerezebweko era atwalibwe mu kkooti," bwe yategeezezza.

Abantu abasoba mu 50, be baafiira mu bwegugungo obwaliwo nga December 18 ne 19, 2020 oluvannyuma lw'akulira ekibiina kya National Unity Platform (NUP) Robert Kyagulanyi Ssentamu okukwatibwa mu disitulikiti y'e Luuka ng'anoonya akalulu k'obwa Pulezidenti.

  • TAGS:

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sheikh Mulindwa ng'asaaza Idd e Luweero.

'Gavumenti eyalayidde erwan...

Sheikh Mulindwa ku muzigiti gw'e Kasana Luweero. Ba Samuel Kanyike           DISITULIKITI Khadi wa Luweero,...

Lubega akulembedde ne Amatos ku kkooti e Makindye.

Abaali bafera paasita basin...

ABASUUBUZI b'omu Kampala basindikiddwa mu kkomera lwa kugezaako kufera Paasita ssente ezikunukkiriza mu buwumbi...

Spice Diana asiibuludde aba...

Bya Mukasa Lawrence  ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku...

Abakozi ba Rock bavudde mu ...

Bya Phoebe Nabagereka Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga...

FDC evumiridde effujjo erik...

Bya Doreen Namaggala AMYUKA ssabawandiisi w'ekibiina ki FDC, Arnold Kaija asabye bannayuganda okukomya okutiisatiisa...