TOP
  • Home
  • News
  • Babakutte lubona n'ente enzibe

Babakutte lubona n'ente enzibe

Added 14th April 2021

Ente ali mu kifaananyi ne banne gye baakwatiddwa nayo.

Ente ali mu kifaananyi ne banne gye baakwatiddwa nayo.

Poliisi y'e Sseeta Nazigo mu disitulikiti y'e Mukono ekutte abasajja babiri abateeberezebwa okuba ababbi b'ente okuva ku mutuuze Authman Ssekirime ow'e Buziba. 

Ku bakwate kuliko; Manisuulu Katabalwa 33, ow'e Buziba ne Juma Kyanjo 29, ow'e Kayanja nga bano baabakutte lubona n'ente enzibe.

Abamu Ku Baakwatiddwa N'ente Enzibe.

Okubakwata kiddiridde poliisi y'e Seeta ng'eyambibwako aba LDU okukola ekikwekweto oluvannyuma lw'okufuna amawulire g'obubbi bw'ebisolo ku kyalo ne babasanga n'ente enzibe nga bagitambuza.

Abatuuze baalabye poliisi ebazingizza kwe kukung'aana ne batandika okubakuba era poliisi olubafunye mu ttaano kwe kubaddusaawo ng'omu afuuwa musaayi. Baatwaliddwa ku poliisi y'e Seeta Nazigo ne baggalirwa.

  • TAGS:

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sheikh Mulindwa ng'asaaza Idd e Luweero.

'Gavumenti eyalayidde erwan...

Sheikh Mulindwa ku muzigiti gw'e Kasana Luweero. Ba Samuel Kanyike           DISITULIKITI Khadi wa Luweero,...

Lubega akulembedde ne Amatos ku kkooti e Makindye.

Abaali bafera paasita basin...

ABASUUBUZI b'omu Kampala basindikiddwa mu kkomera lwa kugezaako kufera Paasita ssente ezikunukkiriza mu buwumbi...

Spice Diana asiibuludde aba...

Bya Mukasa Lawrence  ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku...

Abakozi ba Rock bavudde mu ...

Bya Phoebe Nabagereka Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga...

FDC evumiridde effujjo erik...

Bya Doreen Namaggala AMYUKA ssabawandiisi w'ekibiina ki FDC, Arnold Kaija asabye bannayuganda okukomya okutiisatiisa...