TOP
  • Home
  • News
  • Micheal Azira naye annyuse omupiira gw'eggwanga

Micheal Azira naye annyuse omupiira gw'eggwanga

Added 15th April 2021

Jonathan McKinstry (wakati) ng'abuulirira Khalid Aucho (ku kkono) ne Mike Azira (ku ddyo).

Jonathan McKinstry (wakati) ng'abuulirira Khalid Aucho (ku kkono) ne Mike Azira (ku ddyo).

MICHEAL Azira agucangira mu kiraabu ya New Mexico United yeegasse ku bassita ba Cranes babiri abakannyuka omupiira gw'eggwanga. 

Azira yeegasse ku mukwasi wa ggoolo Denis Onyango abadde kapiteeni wa Cranes n'omuzibizi Hassan Waswa Mawanda.   

Obubaka bw'okunyuka omupiira gw'eggwanga yabuyisizza ku mukutu gwe ogwa Instagram nga yeebaza omukisa ogumuweereddwa okuzannyira ttiimu y'eggwanga ssaako ne famire ye. 

"Kya kitiibwa okubeera omu ku bazannyi abaweerezza eggwanga lyabwe mu buli mbeera era ke kaseera obulamu bwange mbuzze ku pulo." Azira bwe yategeezezza ku mukutu gwe. 

Azira amaze emyaka etaano (5) ku ttiimu y'eggwanga era ezannye empaka za AFCON bbiri ezaali e Gabon ng'ali wansi wa Milutin Sredojević mu 2017 n'e Misiri 2019 ng'atendekebwa Sebastien Desabre. 

Bazannyi banne babadde nabo ku ttiimu y'eggwanga bamwogeddeko; Emmanuel Okwi yagambye nti amwagaliza birungi byereere mu bulamu bwe.

Denis Onyango amutenderezza ng'omu ku bawuwuttanyi abakyasinze ng'era aweerezza eggwanga lye buli lwe libadde limwetaagira so nga ye Khalid Aucho yazze mu maziga. 

 

 

 

 

  • TAGS:

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sheikh Mulindwa ng'asaaza Idd e Luweero.

'Gavumenti eyalayidde erwan...

Sheikh Mulindwa ku muzigiti gw'e Kasana Luweero. Ba Samuel Kanyike           DISITULIKITI Khadi wa Luweero,...

Lubega akulembedde ne Amatos ku kkooti e Makindye.

Abaali bafera paasita basin...

ABASUUBUZI b'omu Kampala basindikiddwa mu kkomera lwa kugezaako kufera Paasita ssente ezikunukkiriza mu buwumbi...

Spice Diana asiibuludde aba...

Bya Mukasa Lawrence  ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku...

Abakozi ba Rock bavudde mu ...

Bya Phoebe Nabagereka Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga...

FDC evumiridde effujjo erik...

Bya Doreen Namaggala AMYUKA ssabawandiisi w'ekibiina ki FDC, Arnold Kaija asabye bannayuganda okukomya okutiisatiisa...