TOP
  • Home
  • News
  • Obulabirizi bw'e Namirembe buyingidde mu nkaayana z'ettaka ly'ekkanisa ly'e Kyanja

Obulabirizi bw'e Namirembe buyingidde mu nkaayana z'ettaka ly'ekkanisa ly'e Kyanja

Added 15th April 2021

Abakristaayo lwe basabira wabweru ku Ssande.

Abakristaayo lwe basabira wabweru ku Ssande.

OBULABIRIZI bw'e Namirembe buyingidde mu nkaayana z'ettaka ly'ekkanisa e Kyanja n'ebugumya Abakristaayo  okusigala nga bakkakkamu ng'ensonga yaabwe bw'ekolwako bafune obwenkanya.

Ab'akakiiko akatwala Ekkanisa ya St. Mark Kakumba esangibwa e Kyanja mu minisipaali y'e Nakawa mu Busumba bw'e Gayaza abalumirizza Ssabandikoni   w'Obusumba buno, Ven. Rev. Herbert  Kabanda Nyanzi okutunda ekitundu ku ttaka ly'ekkanisa baasisinkanye abakulu e Namirembe.

Olukiiko lwetabiddwaamu  n'Omulabirizi Wilberforce Kityo Luwalira n'akola ku by'amateeka mu Bulabirizi bw'e Namirembe, Christine Nansubuga Matovu. 

Nansubuga yategeezezza nti abazimba ku ttaka lino baliwo mu bumenyi bw'amateeka ng'era tebalina na pulaani ya KCCA ng'ensonga eno batandise okugirondoola .

Omulabirizi Luwalira yabasuubizza nga bwe bagenda okufuna obwenkanya ng'era
yabakakasizza nga bwe yayise  Ssaabadinkoni w'Obusumba bw'e Gayaza basobole okugonjoola obuzibu buno.

Ku Ssande Abakristaayo baagaaniddwa okuyingira munda mu kkanisa ng'era baalabiddwako nga batudde wabweru we baayimbidde ennyimba kuba Omubuulizi w'Ekkanisa eno, Fred Kasule teyabaddewo .

Moses Tusiime Omukubiriza W'abakrisitaayo Mu Kkanisa Ya St. Mark Kakumba Kyanja.

Ven. Rev.  Herbert  Kabanda Nyanzi Ow'obusumba Bwe Gayaza Gwe Balumirizza Okutunda Ettaka Lye Kkanisa.

Moses Tusiime yakakasizza nti kituufu ab'akakiiko baasisinkanye abakulu e Namirembe era Omulabirizi Rt. Rev. Wilberforce Kityo Luwalira yabagumizza okukola ku nsonga yaabwe.

Tusiime yagasseeko nti  Sulaiman Kiggundu eyagula ku ttaka ly'ekkanisa, olukiiko lw'ekkanisa lwamuwandiikira n'Obulabirizi bw'e Namirembe nga bumuyimiriza okuzimba n'agaana nga kati azimba misana na kiro ng'era ekimu ku kizimbe bamaze okukikomerera.

Yagasseeko nti bbo tebaliiwo kulwanyisa muntu yenna wabula balwanirira ttaka ya kkanisa kuba nabo baalisangawo nga tebasobola kutunula butunuzi nga ligenda.

 

 

  • TAGS:

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sheikh Mulindwa ng'asaaza Idd e Luweero.

'Gavumenti eyalayidde erwan...

Sheikh Mulindwa ku muzigiti gw'e Kasana Luweero. Ba Samuel Kanyike           DISITULIKITI Khadi wa Luweero,...

Lubega akulembedde ne Amatos ku kkooti e Makindye.

Abaali bafera paasita basin...

ABASUUBUZI b'omu Kampala basindikiddwa mu kkomera lwa kugezaako kufera Paasita ssente ezikunukkiriza mu buwumbi...

Spice Diana asiibuludde aba...

Bya Mukasa Lawrence  ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku...

Abakozi ba Rock bavudde mu ...

Bya Phoebe Nabagereka Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga...

FDC evumiridde effujjo erik...

Bya Doreen Namaggala AMYUKA ssabawandiisi w'ekibiina ki FDC, Arnold Kaija asabye bannayuganda okukomya okutiisatiisa...