TOP
  • Home
  • News
  • Okugattika ebirime kye kikuumidde abalimi emabega -Minisita Ssempijja

Okugattika ebirime kye kikuumidde abalimi emabega -Minisita Ssempijja

Added 15th April 2021

Ssempijja ng'asomesa abalimi.

Ssempijja ng'asomesa abalimi.

MINISITA w'obulimi obulunzi n'obuvubi, Vincent Ssempijja asinzidde mu disitulikiti y'e Bukomansimbi n'ategeeza nti singa Bannayuganda tebazuukuka ne bava ku nkola y'okugattika ebirime eby'enjawulo mu nnimiro emu nti ebyokugaggawalira mu bulimi babyerabire.

Ssempijja abadde alambula eggombolola okuli Butenga, Kitanda ne Kibinge ng'asomesa  ku bulimi n'obulunzi eby'omulembe n'ategeeza nti omuntu yenna akyatuukiriza enjogera y'okulima kalonda ng'ennimiro y'omunafu, tasuubira nti naye alibeerako omugagga mu nsi eno.

Annyonnyodde nti ebirime ebisinga binyunyuta binaabyo singa biba bisimbiddwa wamu ekibireetera obutabala bulungi nga bwe kyandibadde nga bisimbiddwa byokka.

Abalimi basabye okubongeramu emisomo, obuwagizi bw'ebigimusa, ebyuma ebirima  wamu n'ensigo eby'omutindo nti bongere okwenyumiriza mu mulimu gwabwe.

  • TAGS:

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sheikh Mulindwa ng'asaaza Idd e Luweero.

'Gavumenti eyalayidde erwan...

Sheikh Mulindwa ku muzigiti gw'e Kasana Luweero. Ba Samuel Kanyike           DISITULIKITI Khadi wa Luweero,...

Lubega akulembedde ne Amatos ku kkooti e Makindye.

Abaali bafera paasita basin...

ABASUUBUZI b'omu Kampala basindikiddwa mu kkomera lwa kugezaako kufera Paasita ssente ezikunukkiriza mu buwumbi...

Spice Diana asiibuludde aba...

Bya Mukasa Lawrence  ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku...

Abakozi ba Rock bavudde mu ...

Bya Phoebe Nabagereka Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga...

FDC evumiridde effujjo erik...

Bya Doreen Namaggala AMYUKA ssabawandiisi w'ekibiina ki FDC, Arnold Kaija asabye bannayuganda okukomya okutiisatiisa...