TOP
  • Home
  • News
  • ▶️ Obubonero bw'alwadde ekiyongobero

▶️ Obubonero bw'alwadde ekiyongobero

Added 15th April 2021

Obubonero bw'alwadde ekiyongobero

Wano mu Buganda abakazi balowoozebwa okubeera abagumu mu buli mbeera, era nabo beeyogerako ng'abagumira buli kimu.

Y'ensonga lwaki omukazi bw'asanga ekizibu mu nsonga z'omukwano n'amaka era asuubirwa okukigumiikiriza, wadde nga kiba kimuluma.

Wabula ssinga omukyala yenna yennyamira n'okuyongobera okumala ebbanga eddene, ebivaamu tebiba birungi; Omukazi ali mu mbeera eno oluusi ayinza okukola ebimu ku bino;

  • Abeera munakuwavu buli kiseera oluusi n'okukaaba.
  • Okukogga olw'obutalya mmere oba okugejja ennyo olw'okulya ekiyitiridde.
  • Alumwa omutwe n'olubuto olutawona.
  • Anyiiganyiiga mangu.
  • Okubulwa amaanyi n'okukola empola emirimu.
  • Okwesalira omusango n'okweraba ng'atasaanidde.
  • Ayinza okwebaka ennyo oba okubulwa otulo
  • Abulwa obwagazi bw'okwegatta n'ebyomukwano.
  • Alemwa okujjukira ensonga enkulu n'okulemwa okukola okusalawo.

Ssinga omukyala alina obuzibu buno tafuna kuyambibwa, okwennyamira kuyinza okumutuuka ku bwongo ne butabuka.

Noolwekyo bw'olaba omuntu gw'omanyi ng'ali mu mbeera bweti, kirungi omufunire omuntu ayogereko naye kw'ekyo ky'ayitamu, ajja kutereera.

Janat Namubiru agamba nti okubeera mu bufumbo omutali ssente ye kanaaluzaala w'ennaku ne situleesi.

Ate Gertrude Nansamba agamba nti okubeera n'obutakkaanya n'omuntu kye kisinga okumuleetera situleesi.

  • TAGS:

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sheikh Mulindwa ng'asaaza Idd e Luweero.

'Gavumenti eyalayidde erwan...

Sheikh Mulindwa ku muzigiti gw'e Kasana Luweero. Ba Samuel Kanyike           DISITULIKITI Khadi wa Luweero,...

Lubega akulembedde ne Amatos ku kkooti e Makindye.

Abaali bafera paasita basin...

ABASUUBUZI b'omu Kampala basindikiddwa mu kkomera lwa kugezaako kufera Paasita ssente ezikunukkiriza mu buwumbi...

Spice Diana asiibuludde aba...

Bya Mukasa Lawrence  ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku...

Abakozi ba Rock bavudde mu ...

Bya Phoebe Nabagereka Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga...

FDC evumiridde effujjo erik...

Bya Doreen Namaggala AMYUKA ssabawandiisi w'ekibiina ki FDC, Arnold Kaija asabye bannayuganda okukomya okutiisatiisa...